Aba St. Stephens’s Church e Kireka banoonya obuwumbi 8 ez’ekizimbe ky’ekkanisa

6th May 2025

OMUSUMBA wa St. Stephens Church of Uganda Kireka, ekkanisa Nnaabagereka Sylivia Nagginda mw’asabira, asabye Abakkiriza okudduukirira omulimu gw’okuzimba ekizimbe eky’emyaliiro 3 ekigenda okuwemmenta obuwumbi 8 nga kye kigenda okuvaamu ssente eziddukanya ekkanisa.

Rev. Dr. Kimmanje (mu gaalubindi) ng’atongoza omujoozi ogwokuddukiramu n’ekigendererwa eky’okuzimba ekizimbe ky’ekkanisa.
NewVision Reporter
@NewVision
37 views

OMUSUMBA wa St. Stephens Church of Uganda Kireka, ekkanisa Nnaabagereka Sylivia Nagginda mw’asabira, asabye Abakkiriza okudduukirira omulimu gw’okuzimba ekizimbe eky’emyaliiro 3 ekigenda okuwemmenta obuwumbi 8 nga kye kigenda okuvaamu ssente eziddukanya ekkanisa.
Ono nga ye Rev. Dr. Esau Bbosa kimmanje yagambye nti kigenda kubeerako amaduuka, agavaamu ssente ezigenda okuyambako ekkanisa mu ngeri ez’enjawulo nga kaweefube w’okukendeezaako okusonda mu kkanisa eyo.
Abakuutidde okwetaba mu misinde mubunabyalo egigenda okubeerayo nga 28 june omwaka guno, ng’ekigendererwa kyakusolooza ssente ezigenda okumaliriza ekizimbe ekyo, n’atongoza emijoozi egigenda okukozesebwa mu musinde era n’akunga abantu bagyettanire ku 15,000/-. Asabye Bannayuganda bonna bagyetabemu ate babadduukirire olw’enkulaakulana y’ekkanisa ya Uganda.
Yagambye nti ekyambalo kyemijoozi ekitongozeddwa ku lw’emisindi gino kirimu ebigendererwa bingi nga okubuulira enjiri, okuzza obuggya obulamu kubanga dduyiro ayamba nnyo omubiri n’okuzimba ekizimbe ky’ekkanisa. Omukubiriza w’obusumba bw’e Kireka, Joshua Kisibo agambye nti bagenda kudduka nga June 28, 2025 ng’abagenyi abakulu kuliko Obwakabaka bwa Buganda nga bukulembeddwa maama Nnaabagereka, Omumyuka wa Pulezidenti, Jessica Alupo n’abalala.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.