PULEZIDENTI Museveni asiibuludde Abasiraamu mu makaage e Ntebe n’abakuutira okusigala nga beeyisa bulungi nga bwe babadde mu kisiibo nga bwe balowooza n’okukola ennyo bagobe obwavu mu maka.
“Mbeebaza okusiiba omwezi gwa Ramadhan wadde ekisiibo kikyabulako ennaku ntono. Nsaba Allah abakuume nga muli balamu,” Museveni bwe yagambye.
Museveni yasabye abakulembeze b’enzikiriza okukubiriza abantu baabwe okugenda mu maaso nga batya Katonda kyokka nga bwe balowooza ne ku ky’okukola ennyo ebintu ebivaamu ensimbi basobole okwekulaakulanya n’okugoba obwavu mu buli maka.
Mu ngeri y’emu Museveni yeebazizza Abasiraamu okukkiriza enkola ya gavumenti eya PDM egenderera okugoba obwavu mu maka.
“Ndi musanyufu nnyo nti, mwakkiriza ssente za PDM kubanga abantu abamu ssente zino baali bazitegedde mu ngeri ndala nga bagamba nti, ssente za ‘Riba’. Kitegeeza ssente okuli amagoba”, Museveni bwe yagambye.
Yayongeddeko nti, nze ssente za PDM sirina kigendererwa kya kubafunako magoba kubanga gavumenti ya Uganda ye jjajja wammwe mwenna, era ono jjajja wammwe y’abawa ssente zino eza PDM obukadde 100, buli muluka buli mwaka era ssente zino zammwe n’olw’ensonga eyo temusuubira nti, ate zijja kumala zikomewo mu gavumenti, nedda ezo ssente zammwe za kwekulaakulanya mu miruka gyammwe.
Museveni yagambye nti, amagoba amatono ag’ebitundu ebitaano ge twateeka ku kakadde akaweebwa omuntu buli mwaka ga kuzikuuma nga zikyali za mugaso eri mmwe abazikozesa n’abalala basobole okuzifuna. Yeebazizza Abasiraamu okuwuliriza obubaka bwa NRM okubeera obumu. Yawadde Abasiraamu ttulakita 10, ezigenda okutwalibwa mu bitundu bya Uganda 10 omuli Abasiraamu.
Omumyuka wa Pulezidenti, Maj. Jessica Alupo yeebazizza omukulembeze w’eggwanga ne mukyala we Janet Museveni olw’okukkirizanga ne basiibulula Abasiraamu mu maka gaabwe buli mwaka.
Omumyuka asooka owa Mufti Sheikh Muhammad Ali Waiswa eyakiikiridde Mufti Mubajje yasiimye Pulezidenti okusiibulula Abasiraamu buli mwaka era kino tebayinza kukitwala ng’ekya bulijjo.
Omukolo gwetabiddwaako Sheikh Obedi Kamulegeya, omubaka wa Uganda mu Sudan, Sheikh Rashid Yahya Ssemuddu, Hajjat Hadijah Namyalo, akulira ofiisi ya Ssentebe wa NRM mu ggwanga, omugagga Hajji Hassan Bulwadda owa Bulwadda Estate e Kigo, Sheikh Erias Kigozi Khazi wa Wakiso n’abalala