ABAVUBUKA be Luzira bawanjagidde gavumenti okwongera amaanyi mu kukola ku nsonga ezisomooza bavubuka kubanga buli lwebalekebwa ebbali babeera nga abasibye enkulakulana y’eggwanga.
Abavubuka bano nga bakulembeddwamu ssentebe wabwe mu muluka gwe Luzira Joshua Ssekiwunga basinzidde ku wofiisi yabwe esangibwa e Luzira webabadde bakyalizza Omukungu mu kitongole kya Global Green Growth Institute ekivunanyizibwa ku kukuuma obutonde bw’ensi Dagbar Zwebe..
Ssekiwunga ategezezza nga bwebaakizudde nti abavubuka abamu bwebalekebwa emabega mu pulogulaamu za gavumenti ekireetawo ebbula ly’emirimu mu bavubuka.
Ategezezza nga eky’ebbula ly’emirimu mu bavubuka bwerikyali eddibu eddene erisaana okutunulwamu amangu okwewala obulabe ebiyinza okukivaamu.
Ategezezza nga abavubuka bwebali abetegefu okukola nga kyebabulamu kya kubatandikirawo mirimu wamu ne pulojekiti eziyinza okuvaamu ensimbi.
Bano bategezezza Zwebe nga bwebakyalina okusomoozebwa n’ebikozesebwa nebamusaba abatuusize eddoboozi lyabwe eri bonna bekikwatako.
Ssekiwunga ategezezza nga bwebalina ebyalo 21 mu Luzira nga bino birimu abavubnuka abasukka mu 10,000 nga bano bonna basaana okukwatibwako balabe nga bavaamu abantu ab’omugaso eri eggwanga.
Dagbar Zwebe asabye abavubuka obutagendera nnyo ku bya sente wabula basooke banywerere ku kukolera awamu kijja kubayambako okwekulaakulanya.
Asabye abavubuka okwettanira okukuuma obutonde bw’ensi n’abakuutira okubeeranga eky’okulabirako ekirungi yonna gyebabeera bagenze