Bino bibaddewo mu kiro ekikeesezza leero Mmande. Bano tebaategeerekese mannya kyokka abatuuze abamu baabateeberezza okuba ababbi bwe baasangiddwa nga basibe emiguwa nga n’omu ku bo yafudde dda.
Omuserikale ng'aggyawo omu ku bateeberezebwa okutemebwa abeebijambiya
Samuel Kasirivu, kkansala w’abavubuka ku Nantabulirirwa ye awakanyizza eky'abavubuka abo okuba ababbi kubanga we basuuliddwa tewaabaddewo nsiitaano eraga nti abantu abo bakubiddwa lwa bubbi era nga n'abalinaanye ne kisaawe tebaawulidde ku nduulu egoba babbi mu kiro.
Abatuuze nga bakung'aanye okwetegereza amawano
Yasabye poliisi ebayambeko okunoonyereza ku kituufu ekyabaddewo. Paul Daka, kkansala ku Nantabulirirwa yagambye nti tebamanyi ki kyabaddewo na baani abaabatemye.
Ye ssentebe w’e Nantabulirirwa, Patrick Mpaata asabye abantu okugoberera ebiragiro by'omukulembeze w'eggwanga eby’obutatambula mu ssaawa za kafiyu.
Mpaata yagambye omu ku muganda wa bakubiddwa yamutegeezezza nti yayawukanye ne muganda we ku ssaawa ttaano ez'ekiro era teyategedde ki kyaddiridde nga naye ekyekango kimusanze ku makya.
Mpaata asabye abakozi abakola ekiro okutambula ne kaada z'emirimu gye bakola wamu ne densite eziboogerako.