Amawulire

Abasomi ba Bukedde bawangudde ettu lya Eid omubadde n'ekyapa ky'ettaka

Abasomi ba Bukedde bawangudde ettu lya Eid omubadde n'ekyapa ky'ettaka

Omu ku bawangudde ettu lya Eid nga yeetisse ettooke
By: Huzaima Kaweesa, Journalists @New Vision

ABAWANGUZI b’Ettu lya Idi olya Bukedde olwaleero bakwasiddwa ebirabo byabwe byebaawangula okuli ne Nnamukisa awangudde ekyapa ky’ettaka okuva mu B-Clara H Property services.
Entekateeka eno ewagirwa Vision Group nga eri wamu ne bannamikago okuli aba Chapa General Enterprises abakola ne Prestige Margarine wamu n’aba B-Clara H Property Servises.

Abawanguzi nga basitudde eby'assava bya Eid

Abawanguzi nga basitudde eby'assava bya Eid


Bwebabadde bakwasibwa ebirabo byabwe ku kitebe kya Vision Group, Ssalongo Richard Kayiira ku lwa Kampuni ya Vision Group ategezezza nga entekateeka eno bweyajja mu ngeri y’okuddiza ku bantu ababawagidde ebanga lyonna.
Kyokka asiimye nnyo abavujirizi bonna olw’okuvangayo nebenyigira mu ntekateeka eno esobozesa abantu okuyita mu Idi nga basanyufu.
Yegatiddwako; Rose Kigongo ku lwa Bukedde T.v, Ronald Ssebutiko ku lwa Bukedde FaMa ne Michael Mukasa Ssebowa ku lwa Bukedde olupapula era nebasuubiza okwongera okugenda mu maaso nga baweereza abantu bonna mu ngeri esaanide.

Herbert Ssenyonga owa B-clara ng'awaayo ekyapa

Herbert Ssenyonga owa B-clara ng'awaayo ekyapa


Omukunnganya w’Olupapula lwa Bukedde Michael Mukasa Ssebowa ategezezza nga bwebagabidde abantu 75 ebirabo nga bano baayita mu buzannyo obuzze buteekebwawo mu Lupapula lwa Bukedde, Bukedde FaMa ne Bukedde T.V. 
Oluvannyuma abawanguzi bazzeemu nebakuba akalulu akalala okulondako nnamukisa awangula ekyapa ky’ettaka okuva mu B-Clara H Property Servises nga kakwatiddwa Sheikh Adam Walusimbi era omukisa negugwa ku Sheikh Asuman Ssemakula okuva e Kitintale era n’akwasibwa ekyapa ky’Ettaka.

Akulira olupapula lwa Bukedde Micheal Mukasa Ssebbowa ng'ayozaayoza abawangudde ebirabo bya Eid

Akulira olupapula lwa Bukedde Micheal Mukasa Ssebbowa ng'ayozaayoza abawangudde ebirabo bya Eid


Asuman Ssemakula (awangudde ekyapa) asiimye nnyo Vision Group olw’entekateeka eno era n’ategeeza nga obuwanguzi buno bw’abadde tabusuubira era neyebaza Katonda olw’obuwanguzi buno.
Akulira B-Clara H Property Servises, Herbert Ssenyonga ategezezza nga ekyapa ky’omulundi guno bwekisangibwa e Mpigi- Nsaamu nga kibalirirwamu ensimbi 13,000,000/=.
Hajji Yasin Kazibwe okuva mu Prestige Margarine asiimye nnyo bonna ababawagira era n’asuubiza okwongera okutambula n’abantu.
Tags: