Omuntu omu akubiddwa amasasi agamusse mu kiro ekikeesezza leero e Kassanda.
Kino kiddiridde ababbi, okumenya ekirombe kya zzaabu kya "Kayonza Gold ore mine" mu ggombolola y'e Kitumbi e Kassanda ne bagezaako okubba ensaano ya zzaabu.
Kigambibwa nti basanze abaserikale abakuumi b'ekirombe kino aba "Eagle Eye Security Company" bali bulindaala kwe kukubako omu amasasi agamusse abalala ne badduka.
Omugenzi ategeerekese nga Ezedi Mirundi ow’oku kyalo Namulanda mu ggombolola y'e Kitumbi e Kassanda, era ng'omuserikale Peter Charles Otubo agambibwa okumukuba amasasi, naye akwatiddwa mu kuyambako poliisi mu kubuuliriza ku bibaddewo, ng'omwogezi wa poliisi mu Wamala Lameck Kigozi bw'annyonnyola.