Amawulire

Ebyabaddewo ng’omusumba Mulinde awasa omukyala avunaanibwa mu kkooti

EMBAGA y’Omusumba, Dr. John Mulinde eyabaddewo wiiki ewedde ekyayogeza abantu obwama nga beebuuza engeri Pasita gye yawasizza omuwala gavumenti gwe yaggulako emisango nga gikyali na mu kkooti.

Ebyabaddewo ng’omusumba Mulinde awasa omukyala avunaanibwa mu kkooti
By: Ponsiano Nsimbi, Journalists @New Vision

EMBAGA y’Omusumba, Dr. John Mulinde eyabaddewo wiiki ewedde ekyayogeza abantu obwama nga beebuuza engeri Pasita gye yawasizza omuwala gavumenti gwe yaggulako emisango nga gikyali na mu kkooti.

 

Mukwano gwa ffamire y’Omusumba Mulinde ow’ekkanisa ya World Trumpet Mission e Sseguku, era nga y’omu ku bajulizi abakulu mu musango gw’okujingirira ebiwandiiko by’ekkanisa oguvunaanibwa omugole yalaze bwe yakonkomalira mu kkooti gye yabadde agenze okuwa obujulizi.

Mulinde N'omugole Kwezirwa

Mulinde N'omugole Kwezirwa

Okusinziira ku biwandiiko bya kkooti, gavumenti ya Uganda evunaana Brenda Namutebi Kwezirwa akulira enzirukanya y’emirimu mu kkanisa eno ng’ono ye yagattiddwa ne Mulinde ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde.

 

Kwezira avunaanibwa n’omukozi w’ekitongole ekivunaanyizibwa okuwandiisa amakampuni ekya Uganda Registration Service Bureau (URSB) Eddie Muhangi era omusango guli ku nnamba KLA -Co-CR-C0-0630-2025.

 

Omusango guno gwalina okuddamu okuwulirwa nga March 9,2025 mu maaso g’omulamuzi wakkooti ento eya Buganda Road, Ritah Naumbe Kidasa kyokka omuwawaabirwa omukulu, Kwezirwa teyalabikako nga kati gwa kuddamu okuwulirwa enkya nga March 18, 2026.

 

Ensonda mu kkanisa zaategeezezza Bukedde ng’obuzibu bwe bwatandikira ku kugoba abakozi abaali ab’enkizo mu kkanisa, oluvannyuma lw’okubaggulako omusango gw’obubbi. Ku baagobwa kwaliko ababalirizi b’ebitabo, eyali omuyambi wa Mulinde n’abalala ng’embeera eno yaviirako n’eyali akulira ekifo kino okulekulira n’omuwandiisi w’olukiiko olw’oku ntikko n’alekulira.

 

Okunoonyereza okw’omunda kwalaga nti, Kwezirwa yalina omukono mu kugoba abantu bano. Ensonga endala yali yeekuusa ku kuggulibwawo kwa akawunti endala mu ngeri ey’olukujjukujju n’essibwa mu mannya ga Mulinde n’omuntu omulala okuva ku akawunti eri mu mannya ga kkampuni ya Mulinde Global Investments okwali kuyita ssente zonna ez’ekifo.

 

Kigambibwa nti, ssente ezaavanga mu Bazungu zaali tezikyayita ku akawunti ya kkampani ekyaleetawo okweraliikira nti, singa Abazungu abaali babavujjirira bakitegeera kyandibasuula mu buzibu.

 

Ekiteeso ekyasalawo okuggulawo akawunti eno kyalina okubeerako omukono gwa Mulinde n’omuwandiisi wa kkampuni ogugambibwa okujingirirwa nga kino kyakakasibwa lipooti ya kaliisoliiso wa Gavumenti eyalagira okukwatibwa kwa Kwezirwa ne Muhangi.

 

Mu July wa 2024, eyali omuwandiisi wa kkampuni eno yalekulira oluvannyuma lw’akawuntu endala okuggulwaawo mu January wa 2024, awatali kugoberera mitendera mituufu.

 

Mu July, 2025, omu ku baali abakulu mu kkampuni eno yatwala okwemulugunya kw’okujingirira omukono gwe mu ofiisi ya kaliisoliiso wa Gavumenti eyaliko, Beti Olive Namisango Kamya era oluvannyuma lw’okunoonyereza baakwata Kwezirwa ne Muhangi ne basimbibwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road, Ronald Kayizzi eyabasindika ku alimanda mu kkomera e Luzira.

 

Okukwatibwa kwa Kwezirwa kwaleeta akasattiro mu kkanisa kubanga emikolo gy’okwanjula n’embaga gyali gitegekeddwa mu kiseera kino nga kigambibwa nti, Mulinde yasala amagezi okulaba nga yeeyimirirwa.

Tags:
mulinde
Brenda Namutebi
luzira
buganda road