Amawulire

Abaseminario be Ggaba bakoze ekivvulu ky'ennyimba za Maama Maria

Seminario Enkulu ey’e Ggaba, eyakajaguza emyaka 50 bukya egunjibwawo , ewolerezebwa Bikira Maria Omutuukirivu era ensonga ezikwata ku Maama Maria ezitwala nga nkulu nnyo.

Abe Ggaba nga bayimba ennyimba za Biikira Maria
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Seminario Enkulu ey’e Ggaba, eyakajaguza emyaka 50 bukya egunjibwawo , ewolerezebwa Bikira Maria Omutuukirivu era ensonga ezikwata ku Maama Maria ezitwala nga nkulu nnyo.

Eno nno y’ensonga kwaki mukiseera kino nga Klezia Katolika ekuza omwezi gwa Maama Maria, Abaseminario abajisomeramu baasazeewo okutegekera Abakristu ekivvulu ky’ennyimba za Maria.

Ggaba

Ggaba

Ekivvulu kino ky’abaddewo mu Seminario eno (e Ggaba) ku Ssande nga October 8, 2023. Kkwaya y’Abaseminario y’ayimbidde Abaristu ennyimba za Maria ezaayiyizibwa abayiiya ab’enjawulo, okuva mumasaza ga Klezia Katolika gonna mu Uganda. Baayimbye  n’ennyimba ez’ayiyizibwa abazungu.

Ekivvulu kino eky’abaddewo akawungeezi kyetabiddwako ne Ssenkulu wa Seminario eno,  Faaza Dokita Lazaarus Luyinda

Tags: