Amawulire

Abasawo babatendese okwetandikirawo bizinensi

“Abasawo naddala abazaalisa ne ba ‘nurse’ basobola okwetandikirawo bizinensi nga bakozesa obumanyirivu ne tekinologiya wa AI okusinziira ku Prof. Asher Aliga okuva mu Aga Khan University.

Abasawo nga bawuliriza Pulofeesa Peter Williams
By: Ritah Mukasa, Journalist @New Vision

“Abasawo naddala abazaalisa ne ba ‘nurse’ basobola okwetandikirawo bizinensi nga bakozesa obumanyirivu ne tekinologiya wa AI okusinziira ku Prof. Asher Aliga okuva mu Aga Khan University.
Ayongerako nti kino kijjakubayamba okugattiriza ku musaala omutono gwe bafuna basobole okwekulaakulanya n’okubeera mu bulamu obweyagaza. 

Abamu ku basawo abaatendekeddwa

Abamu ku basawo abaatendekeddwa


Aliga bino yabyogeredde mu kutendekebwa okwabadde ku Pan African Holistic Endometriosis wellness Center, ekitebe ky’ekirwadde kya Endometriosis mu Africa yonna e Garuga, Entebbe mu disitulikiti y’e Wakiso.
Abasawo abasukka mu 50 baabanguddwa ku ngeri gye basobola okwetandikirawo bizinensi ezibawa ssente nga tebavudde na ku mirimu gyabwe ne bwe babeera bakolera mu kyalo oba mu kibuga.
“Weetegereze ekitundu mw’okolera olabe ebizibu ebiruma abantu era oyiiye engeri gy’osobola okutandikawo bizinensi ebigonjoola,” bwe yagambye. Mu ngeri eyo, omusawo afunamu nga n’ekitundu bwekiganyulwa. 
Omusomo gwatuumiddwa; Entrepreneurship in Health ekivvuunulwa nti; okutandikawo bizinensi mu byobulamu. Era nga gwabaddewo ku Lwokuna nga October 22, 2026. 
Abasawo baavudde mu disitulikiti okuli; Kayunga, Luweero, Buvuma, Mbale, Arua, Kampala ne Mukono era nga kwabaddeko; abakola ku balwadde abayi, abakola mu ‘theatre’ abazaalisa, abasirisa abagenda okulongoosebwa n’abakugu mu ndwadde z’abakyala okuva mu ddwaliro ekkulu e Mulago n’e Kiruddu. 

Nagawa (owookubiri okuva ku ddyo) yatandikawo ekibiina ekiyamba abakyala abalina ekirwadde kya endometriosis

Nagawa (owookubiri okuva ku ddyo) yatandikawo ekibiina ekiyamba abakyala abalina ekirwadde kya endometriosis


Aliga yawadde ekyokulabirako ky’omuyizi we Grace Nagawa eyatandikawo ekibiina kya Endometriosis Foundation of Uganda (EFU) mu 2022 nga kino yakiggya mu ngeri gye yali abonaabona n’ekirwadde kya endometriosis n’asalawo okutandikawo ekibiina kino omwegattira abakyala abalina ekirwadde kino abasoba mu 500.
Oluvannyuma yeegattibwako Pulofeesa Peter Williams okuva mu Australia ne batandikawo Pan Africa Holistic Endometriosis wellness center.
Bwe yabadde asomesa abasawo, Pulofeesa Yangama Jokwiro okuva mu La Trobe University mu Australia yakikkaatirizza nti abasawo bye basoma mu ssomero tebimala. Beetaaga okukozesa obumanyirivu bwe balina ne tekinologiya wa AI (Artificial Intelligence) okwetandikirawo emirimu.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: