Amawulire

Munnayuganda eyattibwa mizayiro mu Saudi Arabia aziikiddwa

MUNNAYUGANDA Edward Muwenda Kyagera eyattibwa mu Saudi Arabika gy’abadde ku kyeyo ng’avuga bbaasi ku kisawe kye nnyonyi e Saudi Arabia yaziikiddwa eggulo ku Ssande ku bijja bya bajjajja be e Bukasa mu Kabasanda Town Council e Butambala.

Edward Muwenda
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

MUNNAYUGANDA Edward Muwenda Kyagera eyattibwa mu Saudi Arabika gy’abadde ku kyeyo ng’avuga bbaasi ku kisawe kye nnyonyi e Saudi Arabia yaziikiddwa eggulo ku Ssande ku bijja bya bajjajja be e Bukasa mu Kabasanda Town Council e Butambala.

Muwenda abadde omutuuze mu Ngobe e Bunnamwaya yattiddwa nga October 9, 2026 mu lulumba ba Masinale ba Iran aba Houthi abasinziira e Yemen lwe baakoze ku kisaawe ky’ennyonyi ekya King Khalid Internantional Airport mu kibuga Riyadh, ne batta abantu 12 okwali ne Muwenda ne bamulesa ffamire ento! Omusomesa wa Eklezia ya St Joseph e Bukasa, JohnBosco Byekwaso yakulembeddemu okusabira omwoyo gw’omugenzi Muwenda n’asaba abakungubazi okutambulira ku kubo lwa Katonda nga betegekera olunaku lwe balisisinkana Katonda. Taata w’omugenzi nga ye Edward Mutebi yasiimye emikwano gy’omugenzi olw’enteekateeka ezaakoledwa okuzza omulambo n’obuyambi bwonna bwe baawadde ffamire okuva lwe yattibbwa Bannamwandu okuli Flavia Namulidwa ne Irene Namatovu beebaziza abantu abababeereddewo okuva lwa baafirwa omwagalwa waabwe era ne basaba mikwano gy’omugenzi okubakwasizako basobole okukuza bamulekwa.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: