OMUBAKA omukyala ow’e Kalungu,Hajjat Aisha Ssekindi yennyamidde olw’emivuyo egyeyongedde nnyo mu bibiina by’ebyobufuzi mu ggwanga ensangi zino.
Ono yabadde ku kyalo Mukoko mu Kalungu disitulikiti ku mukolo gw’okutongoza enzizi ez’omulembe ezaazimbiddwa ekitongole ky’obwanakyewa ekya [Water Aid] nga zaamazeewo obukadde obwasobye mu 500.
Omubaka Sekindi ng'ayogera ku project y'amazzi ssaako n'embeera y'ebyobufuzi mu ggwanga
Ssekindi yategeezezza nti yadde ng’ekibiina ky’awagira kya NRM wabula yasazeewo agenda kwesimbaawo nga [INDEPENDENT] era nga wano weyasinzidde n’asaba banna Kalungu omulabira ddala mu kiseera ng’akalulu ka bonna katuuse ku ntandikwa y’omwaka ogujja.
Omukolo guno gwetabiddwaako n’eyali minisita w’ebyokwerinda,Vicenti Bamulangaki Ssempijja ng’ono yasiimye ekitongole kya Water Aid olw’okuleteera abantu b’e Kalungu amazzi amayonjo.
Aba water Aid Project nga bawayaamu n'omubka Aisha sekindi
Joyce Magala,omu ku bakulira ekitongole kino yategeezezza nti eddimu lino bagenda kulitambuzza ne mu bitundu by’eggwanga ebilalala kyokka n’asaba abantu b’e Kalungu okukozesa enzizi ezibazimbiddwa obulungu basobole okuziganyulwaamu