Amawulire

ABANTU babiri bafudde, n'abalala basatu ne balumizibwa  mu kabenje akagudde e Rubanda.

ABANTU babiri bafudde, n'abalala basatu ne balumizibwa  mu kabenje akagudde e Rubanda.

ABANTU babiri bafudde, n'abalala basatu ne balumizibwa  mu kabenje akagudde e Rubanda.
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

ABANTU babiri bafudde, n'abalala basatu ne balumizibwa  mu kabenje akagudde e Rubanda.

Akabenje, kabadde ku kyalo Nyakiharo mu muluka gw'e Bubare ku luguudo oluva e Kabale okudda e Kisolo mu disitulikiti y'e Rubanda, mmotoka nnamba UAJ 098V Corolla bwe zitomereganye n'endala HOWO nnamba RAH 802 Q/ RL 6749.

Abafudde, kuliko Faith Kiconco 20 ow'e Kamuserwa e Rubanda ne Alex Namukujije 33 nga w'eggwanga ly'e Rwanda.

Abalumiziddwa, ye Javira Mwesigwa 33 e Bugongii Upper e Kabale nga ye dereeva wa Corolla , n'abasajja abalala babiri  abatwaliddwa mu ddwaliro e Kabale okufuna obujanjabi.

Omwogezi wa poliisi mu Kigezi, Elly Maate, agambye nti ekabenje kaaliba nga kaavudde ku dereeva wa HOWO. Okunoonyereza kugenda mu maaso.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: