Amawulire

Abantu babiri ababadde bekaaliisa n'ejjambiya e kabuusu bakwatiddwa

ABAVUBUKA babiri abagambibwa okukaalaakaala n'ejjambiya, babakwatidde ku bitaala by'e Kabuusu e Rubaga, ne babaggalira.

Abantu babiri ababadde bekaaliisa n'ejjambiya e kabuusu bakwatiddwa
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

ABAVUBUKA babiri abagambibwa okukaalaakaala n'ejjambiya, babakwatidde ku bitaala by'e Kabuusu e Rubaga, ne babaggalira

Abakwatiddwa, kuliko Kalosi Mugambe 28 ow'e Bunnamwaya ne Joseph Senyonga 25 omutuuze mu zooni ya Kigagga e Nateete. Baakwatiddwa ku ssaawa nga bbiri akawungeezi.

Kigambibwa nti abavubuka bano bombi, waliwo emmotoka nnamba UBG 514R egambibwa okubasuula mu kifo ekyo n'ekigendererwa eky'okubba n'okutemula abantu.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, agambye nti , bombi bano, baalabiddwa omukuumi w'essundiro ly'amafuta erya Total eyatemezza ku poliisi ne babakwata.

Tags: