MU wiiki ewedde, abantu abasoba mu 1200 bayooleddwa mu bikwekweto ebikoleddwa mu Kampala n'ebitundu ebirala.
Mu bikwekweto bino, era bayooleddemu ebigambibwa okuba enjaga ebiwerako, ebijambiya, ebyuma ebyeyambisibwa mu kumenya, n'ebigambibwa okuba ebibbe.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, agambye nti byakoleddwa e Ntebe, Kajjansi, Nsangi, Mukono, Bulenga , Nkumba Bufulu ne West Nile
Asabye abantu okuwaayo amawulire eri abantu bebabeera bakengera eri abobuyinza, bakwatibwe.