Amawulire

Abambibwa okutunda ebintu by'oluguudo bakwatiddwa

ABANTU abawerako abagambibwa okutunda n'okugula ebintu ebyeyambisibwa okukola oluguudo e Butalangu Nakaseke, bakwatiddwa poliisi.

Abambibwa okutunda ebintu by'oluguudo bakwatiddwa
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

ABANTU abawerako abagambibwa okutunda n'okugula ebintu ebyeyambisibwa okukola oluguudo e Butalangu Nakaseke, bakwatiddwa poliisi          

Mu bimu ku bibadde bitundibwa, mulimu amayinja, sementi, omusenyu  mu bitundu by'e Kiwoko, Nankonge  n'ebitundu ebiriraanyewo.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, ategeezezza nti omuyiggo gw'abalala, gugenda mu maaso.

Ate era bayigga abantu abawambye omwana w'emyaka 7 asoma mu P2 e Kirumba Masaka bwe yabadde agenda ku ssomero.

Kituuma ategeezezza nti emmotoka yayimiridde ne muvaamu abantu abamuwambye ne babulawo naye era nga ne kati , tamanyiddwako mayitire

Tags: