EKIKANGABWA kigudde e Buloba, abazigu abatannamanyika bwe basse omutuuze omulambo ne baguleka mu nnyumba ne babulawo.
Ettemu lino, libadde ku kyalo Kasero - Ttoomi e Kirimambogo, abazigu abagidde ku pikipiki , bwe bafumbikirizza omutuuze Enock Musoke ne bamutta.
Kigambibwa nti Musoke abadde akola ng'omusawo w'ekinnansi era nga mulimi, abamusse, beefudde abalwadde , ababadde betaaga obuyambi bwe.
Amyuka ssentebe wa LC1 mu kitundu ekyo Moses Lubega, agambye nti , abaamusse babadde basajja babiri, tebaamusanze waka nti ne bamutumya n'akomerawo ku boda boda nti ne bayingira naye munda mu nnyumba nti n'oluvannyuma ne bafuluma ne bagenda.
Agasseeko nti mukyala w'omugenzi akola ogw'obusomesa ng'ali n'abaana, be bagudde ku mulambo mu nnyumba mw'abadde akolera ne batemya ku poliisi.
Omu ku batuuze mu kitundu kino , Juliet Kibirige , ategeezezza omwana gwe basanzeewo, basoose kumuwa ssente ne bamutuma eby'okulya ku dduuka nti yagenze okudda, nga bamaze okumutta babuzeewo..