Gladys Nambayo, omusuubuzi e Wandegeya-Mukono ng’akola n’ekitongole kya Forum for TB survivors, agamba nti yaakakwatibwa obulwadde bwa kafuba emirundi esatu ng’abujjanjaba ne buwona wabula ng’afuna okusoomoozebwa kw’okusosolebwa.
Nambayo ng'atottola bwe yalwala.
“Obulwadde bwa kafuba bwasooka kunkwata nga ndi muto ddala. Wadde nga bazadde bange tebansosola, naye ab’oku kitundu n’essomero gye nnali nsomera baatandika okunsosola nga tebaagala ntuule nabo, okungeya n’ebirala,” bw’agamba.
Ono agamba nti okuzuula abantu abalina obulwadde bwa kafuba kukyali kusoomoozebwa kunene era kye kimu ku bisibye obulwadde buno mu Uganda so nga busobola okujjanjabibwa ne buwonera ddala.
Okusinziira ku minisitule y'ebyobulamu, abantu 136 ku buli 100,000 be balina akafuba mu Uganda ng'abantu 330 abapya be bakwatibwa.
Dr Stavia Turyahabwa.
Okutwaliza awamu, abantu abasoba mu 90,000 be balwala akafuba buli mwaka nga kino kiva ku kusosolwa n’okusongebwamu ennwe eri abazuuliddwa okuba n'obulwadde buno.
Dr Stavia Turyahabwa, amyuka kamiisona w'ekitongole ekirwanyisa obulwadde bwa kafuba yagambye nti kikyetaagisa okusomesa abantu baabulijjo ebikwata ku bulwadde buno ku ngeri gye busaasaana, okubwetangira, obubonero, enzijanjaba n'ebirala olwo okusosola abalwadde kikome ate n'abalwadde basobole okufuna obujjanjabi mu bwangu.
"Abalwadde okumalayo ddoozi nakwo kusoomoozebwa olw'okuba eddagala litwala ebbanga ddene ne kiviirako abamu obutamalaayo ddoozi olwo ne batawona," bw'agamba.
Yannyonnyodde nti olw’okuba obulwadde buno butambulira mu mpewo n'okuva ku muntu okutuuka ku mulala, okukuuma obuyonjo kikulu mu kaweefube w'okubulwanyisa naddala eri abalwadde.
"Bwobeera ogenda mu bifo ebyolukale, yambala masiki, beera n'akatambaala ate bwe mubeera mu kizimbe muggule amadinisa okusobozesa empewo okutambula obulungi," Dr. Turyahabwa bwe yagambye.
Yayongeddeko nti obulwadde buno bukwata ebitundu by'omubiri eby'enjawulo wabula waliwo ebika bya kafuba bisatu mu Uganda okuli: Akafuba k'emimiro, aka magumba n'akamawuggwe. Ebika ebirala kuliko, ak'obwongo n'akamaaso.
Okwongera amaanyi mu kaweefube w'okulwanyisa obulwadde buno, minisitule y'ebyobulamu n'obuyambi okuva mu bitongole ebigabi by'obuyambi etaddewo enkola y'okunyweza n'okuwagira amalwaliro amanene, okukulemberamu n'okulondoola emirimu gya distulikiti okulwanyisa akafuba, akawuka ka siriimu n'endwadde endala.
Dr. Jane Ruth Acheng, minisita w'ebyobulamu agamba nti gavumenti erina enteekateeka y'okumalirawo ddala obulwadde bwa kafuba n'ensimbu omwaka 2030 we gunaatuukira nga kyetaagisa okukolera awamu.