Amawulire

Ab’amasomero basabye gavumenti okwongera amaanyi mu kulwanyisa Ebola

Abakulu b’amasomero mu disitulikiti y'e Mukono bavuddeyo oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’omulwadde w’ekirwadde kya Ebola eyafiiridde mu ddwaaliro e Kiruddu ku Lwokubiri.

Omukulu w'essomero Lydia Lukwago Kagoya ng'ayogera.jpg
By: Saul Wokulira, Journalists @New Vision

Bya Henry Nsubuga

Abakulu b’amasomero mu disitulikiti y'e Mukono bavuddeyo oluvannyuma lw’okufuna amawulire g’omulwadde w’ekirwadde kya Ebola eyafiiridde mu ddwaaliro e Kiruddu ku Lwokubiri.

Bano bagamba nti gavumenti kye kiseera eyongere amaanyi mu kubunyisa obubaka obusomesa abantu ebikwata ku kirwadde kino n’okulaba ng’abo ababa bazuuliddwa nga balwadde  bakuumibwa bunnambiro obutatoloka mu mikono gy’abasawo ate okubusaasaanya mu bitundu by’eggwanga ebirala.

Minisita weby’obulamu Jane Ruth Acheng ku Lwokubiri yavuddeyo n’akakasa nga bwe waliwo omulwadde eyabadde afiiridde mu ddwaaliro e Kiruddu.

Acheng yagambye nti omulwadde ono yadduka mu ddwaaliro n’asooka agenda mu ssabo ng’alowooza bamuloga kyokka bwe byagaana n’addayo mu ddwaaliro e Kiruddu gye yafiiridde.

Ng’akulembeddemu Mmisa y’okusabira abayizi ab’ekibiina ekya S.4 ku ssomero lya St. Balikuddembe Kisoga, Fr. John of God Masaaba agambye nti ekirwadde kya Ebola okutuuka e Kampala kitiisa era nga gavumenti esaanidde okusitukiramu bunnambiro ekole kyonna ekisoboka ng’embeera tennasajjuka.

“Obudde bwe tulimu ku nsonga y’amasomero buzibu nnyo kuba amasomero geetegekera kukola bigezo bya kamalirizo. Ebyembi abazadde batambula okugenda ku masomero okukyalira abaana baabwe, wano nno waliwo okutya nti n’abamu ku bazadde abalwadde ate bayinza okutambuza obulwadde ne butuuka okuyingira mu masomero!” bwe yategeezezza.

Fr. Masaaba Ng'awa Abayizi Abalindiridde Okukola Ebigezo Omukisa.

Fr. Masaaba Ng'awa Abayizi Abalindiridde Okukola Ebigezo Omukisa.

Fr. Masaaba yakoowodde abazadde okubeera abeekisa, abo abali mu bitundu gavumenti by’emaze okunokolayo ng’ebirimu ekirwadde kino beewale okugenda ku masomero g’abaana baabwe. Ono era yasabye abakulu b’amasomero okulaba nga basala ku kukyala n’okuyingira mu masomero.

Akulira abakulu b’amasomero mu munisipaali y’e Mukono, Susan Wamala Sserunkuuma  agambye nti ng’abakulu b’amasomero bali mu kattu olw’embeera eno n’akubira banne omulanga okufuba okuddamu okuteekawo amateeka amakakali ku kwetangira ekirwadde kya Ebola omuli n’okunaaba mu ngalo okw’obuwaze nga bwe gwali ku kirwadde kya COVID 19.

Ate akulira essomero lya St. Balikuddembe Kisoga, Lydia Lukwago Kagoya agambye nti bagenda kuyisa obubaka eri abazadde basale ku ky’okugenda ku masomero nga n’abo ababanjibwa ebisale abawadde amagezi okukozesa enkola y’okuzisindika ku masimu kuba embeera y’ekirwadde kino si ya kusaagiramu.

 

 

Tags:
amasomero
gavumenti
amaanyi
Ebola
okumulwanyisa