Amawulire

Abakulisitaayo e Manyangwa balonze olukiiko lw'akulembeze olupya

Abakulisitaayo ku Knanisa ya All Saints Church of Uganda e Manyangwa mu Busumba bw'e Gayaza, Obulabirizi bw'e Namirembe balonze abakulembeze b'ekkanisa eno abagenda okubakulembera mu kisanja eky’emyaka ena (4) egiddako.

Abakulisitaayo e Manyangwa balonze olukiiko lw'akulembeze olupya
By: Samuel Tebuseeke, Journalist @New Vision

Okulonda okubadde mu kusaba kwa Ssande mu kkanisa e Manyangwa ate nga n'Abakulisataayo abalala ababadde basabidde ku Zoom era nabo kwe balondedde.

Okulonda kwabadde mu nkola ya kukuba kalulu era byagenze okuggwa nga Christopher Ssali y'alondeddwa okubeera omukubiriza era nga ono yabaddeko era kati amyukibwa Godfrey Muguddi , Issac Njologe kyakuzimba n'enkulaakulana nga amyukibwa Ssali Ssetumba, Phoebe Ndiwalana ye muwandiisi ng'amyukibwa Kiweewa Samuel, Jeniffer Kasisiri wa byanjigiriza, Godfrey Kasasa byamawulire, Sylivia Kasirye wa Sunday School, Magezi Samuel mukwanaganya w'abayimbi, Ssenoga Brian wa byabulamu, Kagwa Erisa byantambula, Daniel Seewankambo wa bagennyi, Denis Kiyingi wa Fathers Union, Annet Banyenzaki wa Mission, Milly Ssenkungu Musamaliya omulungi.

 

Okulonda nga tekunnabaawo waasooseewo kusaba nga omubuulizi yakubiriza Abakulisitaayo okuwa ekitiibwa abantu abanaalondebwa era n'abasaba okwogera okwagazisa abantu ekkanisa wamu ne Katonda, n'okwongera okuwaayo ssente z’okuzimba ekkanisa empya gye bazimba esobole okuggwa mu bwangu.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Manyangwa