ABADUKANYA ebitongole ebyobulambuzi mu ggwanga batudde mul usirika e Jinja okusobola okwekubamu ttooci ku biki bye bakoze okusobola okukulaakulanya ebyobulambuzi mu ggwanga na biki byebayinza okwongera obikulakulanya nga olukung'aana luno lumaze ennaku 3 ku wooteli ya gavumenti amanyiddwa nga Crested Crane Hotel.
Akulira Uganda Wild Life Authority Dr James Musinguzi ategeezeeza nti basanyufu nnyo okuba nga baasobola okuzzaayo Enkula 4 mu kkuumiro lya Ajai erisangibwa mu Madi-Okolo West Nile, ekintu ekyasanyusa ennyo abatuuze era mukiseera kino batandiise okufuna abalambuzi ate basuubira okutwaala endala mu makumiro okuli Kidepo ne Murchison Falls National Park.

Abakungu okuva mu Kitongole kye byobulambuzi nga batuude mulukungana okwekubamu tooki e Jinja
Asembyeyo nga agamba nti bakuzimba zoo ezenjawulo nga esoose esangibwa Mbale endala ezigenda okuzimbibwa kuliiko Gulu, Mbarara wamu ne Kyenjojo okusobola okusikiriza abantu okwagala eby'obulambuzi kiyambe eggwanga okufuna ensimbi.
Ono agambye nti mu kiseera kino betanide nnyo tekinologiya era Kati abantu basobola okusasula ensimbi nga bayita ku simu kwossa nokulondoola ebisolo nga bakozesa tekinologiya nebintu ebirala bingi.
Minister we byobulambuzi Hon Tom Butime ategeezeeza nti mu manifesto ya NRM 2021-2025 , gavumenti yakusuumusa Katonga, Tooro-Semiliki okufulibwa amakuumiro ge bisolo agajjudde kwosa ne Echuya, Kyambura, Kigezi okufulibwa amakuumiro ge bisolo oluvanyuma lwa cabinet okuyisa enteekateeka eno okugenda mumaaso, nga kati kirindiddwa palamenti okukakasibwa.

Doreen Katusiime Omuwandiise wenkalakalira mu Kitongole kye byobulambuzi e Jinja
Ono agambye nti baakukakasa nti Bugoma ne Pian-Upe nago gafuulibwa amakuumiro g'ebisolo agajjudde, ky'agambye nti kirungi nnyo kubanga kyakuyamba okukulakulanya eby'obulambuzi mu gwanga.
Asembyeyo nga agamba nti waliwo enkulakuna etukidwaako mukitongole kye by'obulambuzi okuli okuzimba wooteli emanyiddwa nga Crested Crane Hotel, okuzaayo enkula mukuumiro lya Ajai elisangibwa mu Madi-Okolo, West Nile .
Ono avumiridde abantu abonoona erinya lya lyenyonyi y'egwanga Uganda Airlines kyagamba nti kikolwa kikyamu nnyo .