Amawulire

ABANTU abakunukkiriza mu 500 wamu n'emmundu 4, zezikwatiddwa mu bikwekweto ebikoleddwa okuva nga Febraury 3 okutuuka leero mu Kampala.

By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

ABANTU abakunukkiriza mu 500 wamu n'emmundu 4, zezikwatiddwa mu bikwekweto ebikoleddwa okuva nga Febraury 3 okutuuka leero mu Kampala.

Emmundu zino 4, zibadde zakakozesebwa mu bulumbaganyi mu bifo 12 era ng'abantu 9 , be bagambibwa okuba n'akakwate ku kuzibbisa n'okutta abantu.

Kidiridde omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Abas Byakagaba,okukyusa abadde agikulira mu Kampala n'emiriraano Richard Acegu, ekifo n'akissaamu Ezekiel Emitu ng'ono y'abadde akulira Kabalye police Training school.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, agambye nti ebikwekweto bino, bikyagenda mu maaso n'okukolebwa , okulwanyisa obuzzi bw'emisango n'abo abakozesa ebiragalalagala.

Asabye Bannayuganda okwongera okubawa amawulire, n'okuloopa abantu abakyamu n'okwongera okweyambisa emitimbagano, okwanika obumenyi bw'amateeka.

Agasseeko nti waliwo n'abazze bakwatibwa ku ttemu erizze likolebwa era ng'obujulizi babukungaanyizza ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.

Tags: