ABATUUZE ababadde batasalikako musale, basikambudde omusibe okuva ku basirikale ba poliisi, ne bamukuba ne bamutta nga balaba, oluvannyuma ne babulawo.
Bibadde ku kyalo Bakulimya mu muluka gw'e Ndairinga mu kabuga k'e Ntunda e Kyankwanzi, abasirikale ba poliisi bwe babadde batutte omusibe okubalagirira weyassa ejjambiya ng'amaze okutta abantu.
Kidiridde ettemu eryabadde e Ntunda mu disitulikiti y'e Kyankwanzi, abatemu mwe baatemyetemye Awali Sentongo ne mukyalawe owolubuto Doreen Ayebare bombi ne babattira mu nnyumba yaabwe.
Poliisi yakutte Amon Senkula agambibwa okuba nti abadde asula mu nsiko era nga y'akayimbulwa okuva mu kkomera ku misango egy'enjawulo , ne bamutwala mu kibira, okubalaga ejjambiya gye yakozesezza mu ttemu lino.
Kitegeezeddwa nti ttiimu ng'ekulembeddwamu DPC w'e Kyankwanzi n'akulira okunoonyereza ku misango wamu n'abasirikale abalala, abatuuze abaabadde babagalidde emiggo, amajambiya n'amafumu, babalumbye ne babasikako omusibe ne bamukuba ne bamutta.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lamerk Kigozi, ategeezezza nti olwamaze ekikolwa ekyo eggulo, bonna ne babulawo era nga poliisi etandise okuyigga, omu ku omu.