Amawulire

Abakristaayo bakubiriziddwa okunoonya katonda buli ssaawa

ABAKRISTAAYO basabiddwa obutanoonya nga Katonda mu biseera bya buyinike byokka, wabula bafube okumwebaza nga bwaba alina wabatuusizza mu bulamu bwabwe, kibayambe okwongera okufuna ebirungi. 

Sentalo ng'ali ne bannaddiini abalala oluvannyuma lw'okusaba
By: Peter Ssaava, Journalist @New Vision
ABAKRISTAAYO basabiddwa obutanoonya nga Katonda mu biseera bya buyinike byokka, wabula bafube okumwebaza nga bwaba alina wabatuusizza mu bulamu bwabwe, kibayambe okwongera okufuna ebirungi. 
 
Bino byategezeddwa Ordinand Samuel Tusubira owa St Paul’s Kisimbiri mu Wakiso amyuka ssentebe wa disitulikiti ye Wakiso, Edward Ssentalo kweyebalizza Katonda olw’okufuna ekifo ekyo.
 
Tusuubira yagambye nti abantu bangi bafunye ebirungi, kyokka ne batafaayo kwebaza Mukama ate nti bwebimala okubagendako, awo ne bamunoonya nga bamwegayirira abavvunuse omuyaga.
 
“Tulina okwebaza nga Katonda ku buli kkula lye tutuseeko, kubanga buli lwetwebaza, ne Katonda ayongera okutukolera ebinene.
Ssentalo ne bannaddiini abalala oluvannyu,a lw'okusaba

Ssentalo ne bannaddiini abalala oluvannyu,a lw'okusaba

 
Bangi Katonda bamunoonya bafunye okusomoozebwa, naye mbakutira mumunoonye nga nemubiseera by’essanyu.” Tusuubira bweyayongeddeko.
 
Yeebazizza bannabyabufuzi abakkiriza nti Katonda y’abayimusizza okukulembera abalala, era n'abasaba okutambuza obukulembeze bwabwe nga besigama ku Katonda kuba nti teri bukulembeze butava eri Katonda.
 
Tusuubira era yasabye abakristaayo okufaayo okuyambagana mumbeera emu oba endala naddala muby’enkulakulana okulaba nga batwala obukristaayo mumaaso, kyokka nabasaba okwettanira nga amakungula ng’akabonero ak’okuddiza Katonda.
 
Yayongedde n'asaba abantu okusiiima obukulembezze bwa NRM kuba eby’okwerinda bubikutte bulungi, kyokka nasaba obuwereza eri abantu bweyongere okubukala olwo nabo bongere okwenyumiriza mu bukulembeze obuliwo.
Ssentalo ne bannaddiini abalala nga basala cake

Ssentalo ne bannaddiini abalala nga basala cake

 
Ye Edward Ssentalo yebazizza katonda olw’okufuna ekifo ekinene bwekiti era nasiima ssentebe wa disitulikiti ye Wakiso, Ying. Ian Kyeyune olw’okumulondayo mubakkansala abangi namwesigisa ekifo ky’okumumyuka.
 
Yasuubizza okussa amaanyi munteekateeka za Gavumenti eziyamba okukulakulanya abantu omuli n’okwongera okusomoesa abantu ku PDM kubanga eyambye bangi okuva mu bwavu

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: