EBBUGUMU ly'eyongedde mu kivvulu ky'omuyimbi w'ennyimba z'omukwano Chris Evans Kaweesi ekigenda okubaawo ku lw'omukaaga lwa wiiki ejja nga 29 wali ku Freedom city abasuubuzi be wa kisekka bwebamuguzeeko tiketi z'ekivvulu kye namegerera.
Chris Evans nga bamulkwas ebbaasa y'essente z'ekivvulu
Bano nga bakulembedwamu Don auto parts nga baguze emmeeza bbiri ku bukadde 2,Shid auto parts n'agula za mitwalo 50,Tahiya auto parts n'agula za mitwalo 50 eri bakasitooma be bonna,Manera auto parts ne baggula za mitwalo 30,Long Wind auto parts n'agula za mitwalo 30,naba Maria auto parts ne bagula emmeeza ya kakadde kamu.

Chris Evans ng'atuuka mu katale ewa Kisekka
Chris Evans wakati mu ssannyu yeebazizza nnyo abasuubuzi bewa kisekka olw'okuvaayo ne bamuwagira n'asaba abantu bonna abanyumirwa enyimba ze okujja mu bungi ku Freedom city bamuwagire kubanga tagenda kubajjuza agenda kubakuba enyimba ze zonna enkadde ezisinga okubanyumira okuva omuli Rihanna,Ndikusasula ki,Bwolonda,Mulungi,Zaake,another lover,Tubaale,bikalubye,Linda nendala nyingi.

Ev 9
Ekivvulu kya Evans yakitadde ku 10,000/,VIP 30,000/ ate nga emmeeza ya kakadde kamu era akakasiza abawagizi be nti tagenda kubeera yekka wabula abayimbi bonna beyayimbako nabo nga bakulembedwamu Rema Namakula,Moureen Nantume,John Blaq,Serena Bata,Mary Bata nabalala bagenda kubeerayo nnyo nolwekyo abantu basuubire endongo ettagenda kusalako.