Amawulire

Abakozesa balaajanaAbakozesa oluguudo lw’e Nateete balaajana

ABASUUBUZI, abasaabaze n’abakolera e Nateete ku luguudo lwa Masaka Road okuliraana poliisi, balaajana olw’amataba agalegama mu luguudo enkuba bw’etonnya, ekizing’amizza bizinensi n’ebyentambula.

Oluguudo bwe lufaanana e Nateete mu biseera by’enkuba.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

ABASUUBUZI, abasaabaze n’abakolera e Nateete ku luguudo lwa Masaka Road okuliraana poliisi, balaajana olw’amataba agalegama mu luguudo enkuba bw’etonnya, ekizing’amizza bizinensi n’ebyentambula.
Oluguudo luno okuviira ddala mu bitaala okutuuka ku ppaaka y’e Nateete lumaze omwaka mulamba nga terukolebwa.
Mu kifo kino waliwo ebinnya bingi, nga buli enkuba lw’etonnya weesima ne mulegamamu amazzi, ekireetera ab’ebidduka okuwagaanya ne babiyisa ku mbalaza z’ebizimbe okwewala okugwa mu binnya.
Embeera eno era ereetera ebidduka okutambula akasoobo ekivaako akalippagano k’ebiddula naddaala mu biseera by’oku makya ng’abantu bagenda okukola, n’akawungeezi.
Ate mu biseera by’omusana enfuufu esituka naddala ng’emmotoka ziyitawo, n’ekosa abakolerawo ssaako okukaddiya ebyamaguzi mu maduuka, oluusi ne kiremesa bakasitoma okubigula.
Omu ku basuubuzi, Brian
Mukasa yagambye nti, basasula emisolo mingi naye tebaganyuddwa kuba kati omwaka mulamba okuva KCCA lwe yasima ekkubo n’eggyamu koolaasi naye tewali kikolebwa.
Basabye be kikwatako okuli; omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni, Katikkiro w’eggwanga Robinah Nabbanja, minisita w’eby’enguudo n’entambula Edward Katumba Wamala, ekitongole kya KCCA n’abakulembeze baabwe, okuvaayo bayingire mu nsonga eno bayambibwe kuba bali bubi.
Bategeezezza nti, Pulezidenti bwe yali alambula Kampala gye buvuddeko, yayitako ku luguudo luno n’ayogerako gye bali ng’abasaasira olw’embeera gye lulimu ne balowooza nti, lugenda kutereezebwa, naye teri kyali kikoleddwa.
Kansala w’e Nateete ku ggombolola e Lubaga, Richard Kayima Jjuuko, yagambye nti, oluguudo luno lwe lutwala mmotoka ezidda e Masaka n’e Mityana naye kyennyamiza okubeera mu mbeera eno.
Omwogezi w’ekitongole kya KCCA, Daniel NuweAbine yagambye nti, bagenda kukwatagana n’aba minisitule y’eby’entambula n’enguudo okulaba nga batereeza ekizibu ekyo mu bwangu ddala. Yasaasidde abasuubuzi, abatuuze n’abantu ab’enjawulo abalukozesa

Tags: