NG’EGGWANGA likyusa okuva ku nnamba z’emmotoka enkadde ezibadde zeeyambisibwa okumala emyaka 100 okudda ku mpya, abantu balaze ebyetaaga okukolwako mu bwangu.
Kkampuni ya Russia eya Joint Stock Company, Global Security (JSC) ye yaweebwa kontulak ti ey’emyaka 10 ey’okuteeka obuuma obulondoola ebidduka ku nnamba
z’emmotoka mu nkola emanyiddwa nga ‘Intelligent Transport Monitoring System.’
Baasookera ku kya kugula byuma naddala kkamera enkessi, okuteekawo ekifo
we balondoolera entambula y’ebidduka ku nguudo.
Ekyaddako kwali kutendeka baserikale ba ku nguudo era ne baweebwa ebikozesebwa
okukola emirimu.
Nnamba puleeti ezirimu obuuma obulondoola ebidduka ezaasooka zaaleetebwa
nga November 1, 2023 nga baasookera ku mmotoka za Gavumenti.
Omutendera ogwaddako gwaliwo nga November 1, 2024 n’okufulumya nnamba za
ppikippiki. Wadde ng’enkola eno ekyagenda mu maaso, kyokka wazzeewo okwemulugunya okuva mu bannannyini ppikippiki ezisaabaza abantu eza bodaboda abagamba nti bwe bazibabbako era tebazizuula
nga bwe baasuubizibwa. Kyokka abakulira kkampuni ya JSC eyaweebwa omulimu
gw’okukola ennamba empya, bagamba nti obuzibu businga kuva ku baserikale ba poliisi
ababeera mu kifo awabadden obubbi abalwawo okutegeeza abali ku kitebe we balondoolera kkamera. Olumu tebafunira ddala lipooti zikwata kum ppiki eziba zibbiddwa.

Ennamba ya digito eyassiddwa ku ppikippiki.
BYOLINA OKWETEGEREZA
lPpiki n’emmotoka ezirina ebipapula by’okusasula engassi z’obuliwo tezisobola kufuna nnamba mpya, nga tezinnaba kusasula bbanja.
lEnkola tegumiikiriza bikolwa bya buli bwa nguzi ebirimu okukola ku kidduka kyonna ekiriko ensonga etamulunguluddwa bulungi.
EKIRUUBIRIRWA MU NKOLA ENO
Ekiruubirirwa mu nkola eno kwe kutereeza ebyentambula n’okulwanyisa obumeny bw’amateeka obweyambisa ppiki n’emmotoka.
OSABA OTYA
Minisitule y’ebyenguudo n’entambula yategeezezza nti ekiti ky’emmotoka eziyingira mu ggwanga omulundi ogusoose, zeezo ezirina okusasula emisolo ku mwalo e Mombasa oba Dar Salaam.
Emmotoka z’ekika kino zisobola okuyingira eggwanga ng’emmotoka eteereddwako ennamba empya we zituukira ku booda era nga zirina n’obutabo obuzoogerako. Ekyetaagisa kyokka kwe kugenda ku mutimbagano gwa portal.itms.ug amangu
ddala ng’omaze okusasula emisolo. Minisitule era agamba ekiti kino kikwata ku bantu abaleeta emmotoka mu bonded warehouses nga tezinnasasula musolo.
Oluvannyuma lw’okusasula emisolo n’okubalirira byonna ebyetaagibwa ekitongole ekiwooza ky’omusolo ekya URA nga mwotwalidde n’okuwandiisa
mmotoka okukolebwa mu minisitule y’ebyentambula, ogenda ku mutimbagano gwa items.ug n’osaba okuweebwa ennamba empya. Oluvannyuma lw’okukakasa,
kasitooma alonda obudde n’ekifo w’ayagala okumuteerako ennamba empya ku mmotoka era ne bagimuleetera.