ABANTU mu bitundu bya Kampala Central basabye bannaabwe okubeera nga bawagira Pulezidenti Museveni kubanga yaalina omutima ogulumirirwa omuntu wa wansi.
Bano be bamu ku bantu 1,700, abazze baganyurwa mu pulogulamu ya State House eya Youth Wealth Creation eyatandiikibwaawo mu 2022 n’ekigendererwa eky’okuwagira abantu abakola emirimu gya wansi.

Omukyala eyaweebwa ddulaaya ng'esannyu limutta
Bino babitegeezezza akulira pulogulamu eno Faizal Ndase bwabadde egenze okulambula engeri ebintu ebyabaweebwa bwe babikozesaamu ng’atuuse mu bitundu okuli; Kisenyi, Owino, Kamwokya, Kyebando, Mulago n’ewalala.
Kubano kuliko abatunzi be byalaani, abasiika chapati, abasiika chipusi, abasiika emberenge n’abazisaluuni nga bano baafuna ebintu okwali obuuma bwe mberenge, ebyaalani, zi ddulaaya za saluuni, obumonde, butto ne birala.
Ndase ategeezezza nti abantu ebintu ebyabaweebwa bangi ku bbo babikozesezza bulungi era waakiri abalinawo enjawulo mu bye nfuna yabwe okusinziira we baabasangira.
Alambuludde nti omutendera oguddako gwe gw’okukola SCCO mu bantu bano okusinziira mu bitundu gye bakolera olwo pulezidenti abateeremu ssente bazeewole bongere okwekulakulabya n’okusitula embeera zabwe.

Abavubuka abaweebwa engano ne butto mu Kisenyi nga bali mu bizinensi zabwe
Ono asiimye amaka g’obwa pulezidenti agavuggirira pulogulamu eno okuyita mu agavunaanyizibwaako Jane Barekye.
Prim Rose Talunga ow’e Mulago yawebwa ebyalani 2, alaze okusiima kwe eri Jane Barekye ne pulezidenti Museveni olw’okwesiga Ndase ne bamukwasa pulogulamu eno.
Agamba nti baalina okusoomozebwa nga tebalina bikozesebwa bimala wabula okuva lwe baafuna obuyambi embeera yakuukamu era balina n’abawala be batendeese.
Bridget Naluyima ng’asiika chipusi mu Owino ategeezezza nti Pulezidenti Museveni ku kyeyabakolera balina kumusasulamu kimu nga bamuyiira akalulu era n’akunga abantu okuwa akalulu kubanga bakyamulinamu essuubi ddene