ABANTU 8 abagambibwa okwenyigira mu kwokya amanda, okugasuubula n'okugatambuza okuva mu bitundu bya West Nile ne mu mambuka, bakwatiddwa poliisi mu kikwekweto ekikoleddwa.
Poliisi ebadde essa mu nkola ekiragiro kya pulezidenti, mwe yawerera abantu okwokya amanda mu kitundu ekyo nga May 2023 executive order number 3, nga teri akkirizibwa kugookya, kugatambuza, okugasuubula oba okugatunda.
Gaagaanibwa era ne mu bitundu omuli Karamoja Sub region, Teso sub region era ebikwekweto bizze bikolebwa mwe bazze bakwatira abantu n'emmotoka ezigatambuza.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Kituuma Rusoke, agambye nti ekikwekweto baakikoze mu disitulikiti ya Madi Akolo era ng'abaakwatiddwa, bagenda kuvunaanibwa.