Abagambibwa okutigomya ekyalo basaliddwako enviiri

ABATUUZE b’e Namwezi mu ggombolola y’e Goma bakidde abavubuka 3 ne babasalako enviiri wakati mu lukiiko lw'e Kyalo 

Abagambibwa okutigomya ekyalo basaliddwako enviiri
By Teopista Nakamya
Journalists @New Vision
#Amawulire #Kyalo #Ssentebe #Kutigomya #Nviiri #Batuuze

ABATUUZE b’e Namwezi mu ggombolola y’e Goma bakidde abavubuka 3 ne babasalako enviiri wakati mu lukiiko lw'e Kyalo  nga babalanga okwetaba mu kabinja ka ‘Bengaazi’ akagambibwa okutigomya ekyalo.

 Era oluvannyuma bataddeko kakokola tondeka nnyuma ne baleka olukiiko nga lugenda  maaso.

Omu Ku Batuuze Ng'alumiriza Abavubuka Bano Okumuwemulanga.

Omu Ku Batuuze Ng'alumiriza Abavubuka Bano Okumuwemulanga.

Kuliko Nathan Walusimbi 20, Ivan 20 nga yeeremye okwogera erinnya ery’okubiri ne Gerald Mukalazi 20 nga bonna baana nzaalwa ya ku  kyalo.

Okusalibwako enviiri abatuuze abasoba mu basatu  baasoose kubalumiriza okubawemulanga , okubba enkoko, amasimu ssaako okubateeganga mu kkubo nga bava ku mirimu ne babakwata embadiya olwo ne bakuuliita n'ebyabwe.

Kitaawe wa Mukalazi omuto, James Bukedde olwawulidde ebigambo ebyo n’alagira diffensi w'ekyalo Erick Ssentongo okuleeta makansi nga n'ekyaddiridde kwabadde kumusalako nviiri kika Kya "Dread"  ne Walusimbi ne bamukola kye kimu ate ye Ivan tebaategedde we yayise.

 

Bano bakira babasala bwe beemulugunya ku Ssentongo nti si ye yandibadde abakekejjula atyo kubanga naye ebiseera ebisinga bamuwulira awemula.

Bukedde yannyonnyodde abatuuze nti Nathan Kiwanuka taata wa Mukalazi, Yali yamulagira dda okusala enviiri ezo ne yeerema nga n’ekyaddirira yali asazeewo kumutema waakiri bamusibe eky'omukisa Mukalazi n’adduka.

Abavubuka bano okulemera ku Ssentongo nti Muwemuzi munnaabwe kyaggye ssentebe Charles Nsubuga Ndawula mu mbeera n’ababoggolera obutabaggya ku mulamwa era n’asaba abatuuze bwe balaba omubbi Yenna bakube enduulu okudduukirirwa.

Olw'obunkenke bw'ababbi ababasuza nga tebeebase abatuuze baasazeewo okugula kkaadi y’ekyalo kibeere Kya buwaze, buli omu okutoola 20000/= ng'olukumi lwa kugula akazindaalo kamukalakaasa ate olulala luyambeko okugula ebikozesebwa eri abo abeewaddeyo okukuuma ekyalo.