Amawulire

Omukazi agambibwa okubba omwana omulenzi ow'emyezi esatu akwatiddwa poliisi.

Omukazi agambibwa okubba omwana omulenzi ow'emyezi esatu akwatiddwa poliisi.

Brenda Amongin
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Omukazi agambibwa okubba omwana omulenzi ow'emyezi esatu, akwatiddwa poliisi. 

Brenda Amongin nga w'e Kalaki, y'akwatiddwa n'ebbuje okuva e Soroti gy'agambibwa okulimba omusajja nti yabadde azadde. 

Kitegeezeddwa nti ono yabadde azze wakizibwe we Sarah Akunyo e Kireka D cell e Namugongo mu Kira, nti kwe kubba omwana omulenzi n'abulawo naye. 

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, agambye nti ono yasoose kusaba bba ssente nti egenda kuzaala kwe kubba omwana era nga bamukwatidde Soroti n'omwana

Tags: