OMUSAJJA abadde akedde okusima ekinnya ky’oluzzi aguddemu n’afa oluvannyuma lw’abatuuze okulemererwa okumuggyamu bwe batyo ne bayita poliisi emuggyemu.
Moses Kibalama Katumba abadde asima ekinnya ky’amazzi ew’omutuuze ategeerekeseeko erya Maseruka.
Abatuuze bategeezezza nti Katumba yeesibye omuguwa mu kiwato okusobola okukka wansi atereeze ekinnya kyokka abadde yaakatuuka mu makati gaakyo omuguwa ne gukutuka bw'atyo n'agwa wansi nga wano banne baagezezzaako okumusikayo ne balemererwa bwe batyo ne bayita poliisi okuva e Matugga eyeegattiddwako ey’abazinya mwoto bazze ne bamuggyawo.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yagambye nti batandise okunoonyerezza ku ngeri Kibalama gye yafuddemu kyokka n’alabula abantu bonna abalina ebinnya mu maka gaabwe okufuna abantu abakugu abasobola okukola emirimu egyo okusinga okufuna abantu abatali ku mutindo