Disan Ssekalevu 29, abadde agufudde omuze okubba ebyuma by’emirongooti kkooti egumusingisizza omusango n’ayatula obulokozi asomye Zzabuli 32:5 n’agamba nti aboneredde.
Ono avunaanibwa n’omusuubuui wa sikulaapu mu Kisenyi ,Edrick Miravumba. Baakudda mu kkooti omulamuzi Gladys Kamasanyu okubasalira.
Bavunaanibwa okubba omulongooti gwa American Tower Coperation e Ntinda.
Omuwaabi wa gavumenti yasabye Ssekalevu asibibwe emyaka 10 nti kubanga guno mulundi gwakubiri ng’abba emirongooti n’akyusa amannya, kyokka bo beegayiridde babasonyiwe.