Ababaka bakukkulumye olw'engeri oluguudo lwa Kampala Jinja Highway gye lwakolebwamu

ABABAKA abatuula ku kakiiko akavunaanyizibwa ku kulondoola ebisuubizo bya gavumenti, balaze obutali bumativu olw'engeri oluguudo lwa Kampala Jinja Highway gye lwakolebwaamu gye baayise eya gadibengalye.

Ababaka bakukkulumye olw'engeri oluguudo lwa Kampala Jinja Highway gye lwakolebwamu
By Joanita Nakatte
Journalists @New Vision

ABABAKA abatuula ku kakiiko akavunaanyizibwa ku kulondoola ebisuubizo bya gavumenti, balaze obutali bumativu olw'engeri oluguudo lwa Kampala Jinja Highway gye lwakolebwaamu gye baayise eya gadibengalye.

Bano n'abakungu okuva mu kitongole ekivunaanyizibwa ku by'enguudo ki UNRA nga kwogasse n'abekitongole kya Energo, balondodde engeri oluguudo luno gye lwazimbibwa okuva mu kabuga k'e Seeta okudda e Lugazi ne bakunya abakulu ku nsonga ebaviiriddeko okukola omulimu guno akasoobo kyokka nga gavumenti ezze ebawa obutitimbe bw'ensimbi, ng'amatama ntengo.

Bakira abakulu okuva mu kitongole kya UNRA ne Energo balemererwa okuddamu ebimu ku bibuuzo ne bajuliza bakama baabwe abatabaddeewo, ekintu ekiggye ababaka mu mbeera kye baayise okubalengezza era ne bakomba kw'erima okulambula omulimu guno okutuusa abakulu lwe baabeeyunzeeko.

Ekisaakaate Ky'essomero Lya Sseeta High Schoolababaka Kye Baalagidde Kigyibweewo Mu Bwangu.

Ekisaakaate Ky'essomero Lya Sseeta High Schoolababaka Kye Baalagidde Kigyibweewo Mu Bwangu.

Bababuuzizza akana n'akataano ku nsonga lwaki baazimba enguudo enfunda ekiwadde abagagga ebbeetu okuzimba mu kibangirizi ky’oluguudo luno ekintu ekivuddeko obubenje okuyitirira.

Omubaka  Robert Ssekitooleko akiikirira essaza ly'e Baamunaanika annyonnyodde nga bwe baasazeewo okuggala geeti y'essomero lya Seeta High School obutaddamu kukozesebwa, n'ekisaakaate ky'ekkanisa etunudde mu ssomero lino mu bwangu ddala olw'ensonga nti byazimbibwa mu  bifo eby'obulabe ennyo ku luguudo luno.

Nambooze Bw'badde  Ng'aliko By'alagaba Kontulakita Mu Kifoekimu Eky'okuluguudo Luno......

Nambooze Bw'badde Ng'aliko By'alagaba Kontulakita Mu Kifoekimu Eky'okuluguudo Luno......

"Twagala eyakola ku nsonga y'okulondoola omulimu gw'okuzimba ekkubo lino, yinginiya w'oluguudo luno abakwasisa ebiragiro mu UNRA n'avunaanyizibwa ku mirimu mu kitongole ekyo okweyanjula eri akakiiko kaffe batulage n'okutunnyonnyola alipoota y'oluguudo luno n’ensasaanya y’ensimbi gavumenti z’etadde mu mulimu guno," Ssekitooleko bw'agambye.

Omubaka Stephen Sserubula owa munisipaali y'e Lugazi asabye ebinnya ebiri ku luguudo lw'omu mabira okubiziba amangu ddala olw'obubenje obususse.

Omu ku ba yinginiya Charles Kalinaki, asuubizza ababaka nga bwe bagenda okusooka okuddaabiriza ebifo ababaka bye baasinze okusimbako essira naddala enguudo ez'ebinnya era nga n'abaazimba mu kibangirizi ky'ekkubo lino, baakumenya byonna bye baazimba.