Abantu babiri ababadde basima oluzzi e Kakindu mu Mityana, bafudde ekiziyiro.
Bibaddewo, abasajja babiri ababadde basima oluzzi ku kyalo Bifuma LC1 mu ggombolola y'e Kakindu , bwe babadde bassa ppampu wansi mu luzzi lwe babadde baakamala okusima, omukka ne gubabula ne bafunira ekiziyiro mu luzzi luno.
Abafudde kuliko omu ategeerekese nga Rasta n'omulala Rogers Brown era nga kigambibwa nti bibadde mu maka ga Mohammed Bamulanzeeki .
Kitegeezeddwa nti Rasta, y’asoose okukka wansi okussaayo pump eyo , n'azirika, munne naye kwe kwagala okukkayo amutaase, bombi ne bafiiramu.
Kigambibwa ssentebe wa LC1 mu kitundu ekyo, James Ssemango, atemezza ku poliisi y'e Kakindu abagenze n'abazinyamooto ne baggyayo emirambo ne gitwalibwa mu ggwanika ly'eddwaliro e Mityana, okugyekebejja, ng'omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, bw'annyonnyola.