Ebitongole bya gavumenti omuli minisitule y’ebyobulimi, amakolero g’ebisolo n’obuvubi, minisitule y’amazzi n’obutonde bw’ensi n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku butonde bw’ensi mu ggwanga (NEMA) byeyamye awatali okuwagira Kembogo Aquaculture park
Minisita Migadde n'abakungu abalala mu lukiiko
Mu kulambula emirimu ku ppaaka eno esangibwa ku kyalo Kembogo,Katalama parish,Ddwaniro Sub-county mu disitulikiti y'e Kiboga,abakungu nga bakulembeddwamu minisita w'eggwanga ow'ebyobuvubi Robert Migadde Ndugwa bategeezezza nti pulojekiti y'okulunda ebyennyanja e Kembogo yeetaaga obuwagizi bwa gavumenti okuva okwolesebwa kwayo kwe kukulaakulanya eggwanga nga kutondawo emikisa eri Bannayuganda naddala abavubuka.

Minisita Robert Migadde ng'ali n'abakungu abalala mu kifaananyi ekyawaamu
Dayirekita wa NEMA Dr Akankwasa agamba nti pulojekiti eno ey’okulunda ebyennyanja erina okuwagirwa okuva bweri ekuuma obutonde bw’ensi.
Akankwasa yagasseeko nti pulojekiti eno erina okwolesebwa okulungi okw’okuzzaamu abavubuka amaanyi nga babatondawo emirimu n’okukuuma obutonde bw’ensi.

Mig 50
Omuwandiisi wa parmanet mu minisitule y’amazzi Dr Alfred Okidi agambye nti minisitule y’amazzi n’obutonde bw’ensi ekolagana n’abaddukanya ppaaka ya Kembogo Aquaculture park olw’ebirungi bya gavumenti.
Minisita w’eggwanga ow’ebyobuvubi Robert Migadde Ndugwa yakubye mu ngalo abaddukanya ekitongole kya Kembogo Aquacul