ABANTU musanvu okuli ne balooya abagambibwa okugezaako okwekalakaasa nga bawakanya okuggalirwa kwa looya wa Rtd. Col. Dr. Kiiza Besigye, Aron Kiiza , bakwatiddwa .
Kiiza , kkooti y'amagye e Makindye mu Kampala , yamuwadde ekibonerezo kya kusibwa emyezi 9 mu kkomera e Kitalya, olw'okutaataganya kkooti eyo. Kino kizze kiwakanyizibwa abamu ku balooya n'abantu sekinnoomu.
Kidiridde ekibinja ky'abantu bano, ababadde bakutte ebipande ebivumirira okukwatibwa kwe, okukumba nga boolekera ebizimbe bya Kkooti enkulu mu Kampala kyokka poliisi n'ebakwata.
Abakwatiddwa, kuliko Agatha Atuhairwe, Geoge Otieno, Godwin Toko, Akram Mubala , Norah Kobusinge, Khatondi Webuhulu ne Praise Aloikin Opoloje . Abamu ku bakyala abakwatiddwa, be bamu ku baalumba parliament gyebuvuddeko nga beyambudde amabeere gali bweru.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, agambye nti , bakuumirwa ku CPS mu Kampala ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.