Amawulire

Aba Uganda Civil Aviation Authority batandise kampeyeni y'okutaasa obutonde bw'ensi

Aba Uganda Civil aviation Authority (UCAA) bongedde amaanyi mu  nteekateeka y'okukozesa amafuta g'ennyonyi agatafulumya mukka gutali mulungi mu kaweefube w'okukuuma obutonde bw'ensi.    

Amyuuka Akulira UCAA Olive Lumonya e Munyonyo
By: Godfrey Ssempijja, Journalists @New Vision

Aba Uganda Civil aviation Authority (UCAA) bongedde amaanyi mu  nteekateeka y'okukozesa amafuta g'ennyonyi agatafulumya mukka gutali mulungi mu kaweefube w'okukuuma obutonde bw'ensi. 

Mu lukungaana olutudde ku Speke Resort Munyonyo era nga lwetabidwaamu ebitongole ebyenjawulo okulaba engeri ki esobola okuyitibwaamu okulaba nga batandika okufuna amafuta amayonjo kisobole okutaasa obutonde.

Abamu ku beetabye mu lukungaana e Munyonyo

Abamu ku beetabye mu lukungaana e Munyonyo

Olive Lumonya amyuuka akulira UCAA agambye nti balina okulaba nga balwanirira obutonde era nga kino balina okukikola nga bateekawo enteekateeka ennungi era ku bino baleese bus zabakozi ezikozesa amasanyalaze , okussawo embeera nga enyonyi esobola okuka Wansi nga tewali byabutonde byononese .

Ono agambye nti balina ekirubirira kyokulaba nga bebasooka okussaawo embeera enungi erwanirira obutonde nga bakendeeza omukka oguva mu mafuba amacaafu .

Khalid Muwembo omwogezi w'ensonga zo butonda ku UCAA agambye nti balina enteekateeka ezenjawuulo ezikolebwa okukakasa nti ensonga yobutonde ekwatubwaako okuli okulaba nga ebisasiro bilongoosebwa okufunamu  ebyomugaso , ebikajjo nemuwogo  basobola okufunamu amafuta genyonyi nga amafuta gano singa gatundibwa basobole okufunamu ensimbi 

Tags: