Aba 'Team Thorough' abaanoonyeza aba NRM akalulu balajaana
Bannakibiina kye NRM abeegattira mu kisinde kya Team Thorough YKM abazze banoonyeza abesimbyewo ku kkaadi ye NRM ku bifo eby'enjawulo akalulu bakukuluma lwakwerabirwa.
Abakulira ekisinde kya Team Through YKM abaakuyegera bannakibiina kya NRM okuva ku kkono Ezra Watuwa,John Mugisha ssentebe,Mosese Henry Tahoreraho , Pr. Boniface Kikamati ne David Mugabi ayimiridde ku
By Ponsiano Nsimbi
Journalists @New Vision
Bano nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe John Mugisha Mushaijaomwe bagamba nti okuva mu 2015, lwe baatongozebwa Pulezidenti Museveni oluvannyuma lw'okutendekebwa e Kyakwanzi bazze banoonyeza bannakibiina akalulu kyokka bwe bamala okubatuusa ku buwanguzi ne babeerabira.
Yagambye nti bakoze kinene okukuumiira gavumenti ya NRM mu buyinza naye buli okulonda lwe kuggwa nga basuulibwa saako n'abamu ku bakulembeze okukyusa amasimu gaabwe.
Mugisha agamba nti bawandise ebbaluwa eziweera nga basaba okusisinkana Pulezidenti bamunnyonnyole okunyigirizibwa kwe bayitamu kyokka balemeddwa okumutuukako.
Ono agamba nti ekisinde kino kirina bammemba abasoba mu 300 okwetoloola eggwanga lyonna kyokka waliwo abantu abatandise okwerimbika mu kisinde kyabwe n'ebigendererwa ebitali bituufu nga bano abawadde amagezi okuyita mu makubo amatuufu okubeegattako.
Ezra Watuwa omukwanaganya w'emirimu mu Bugwanjubwa bw'eggwanga agamba nti ekiseera kituuse nabo balowoozebweko era bawulirizibwe kubanga batubidde mu bizibu bingi ebyava mu mirimu gye beenyigiramu egy'okunoonyeza bannakibiina akalulu.
Yagambye nti batubidde mu mabanja nga n'abamu ebintu byabwe bitwaliddwa abantu abaabawoola ssente ze baateeka mu kunoonyeza bannakibiina akalulu.