Amawulire

Aba PLU bagenda kuddamu okutalaaga eggwanga mu kaweefube w'okusomesa abantu okwagala eggwanga lyabwe

ABAKULIRA  ekisinde kya “Patriotic League Of Uganda “ PLU ekya Gen. Muhoozi Kainerugaba bazzeemu okulangirira enteekateeka z’okuddamu okutalaga eggwanga okwongera okwagaziza bannayuganda ebigendererwa byabwe. 

Team MK
By: Joseph Mutebi, Journalist @New Vision

ABAKULIRA  ekisinde kya “Patriotic League Of Uganda “ PLU ekya Gen. Muhoozi Kainerugaba bazzeemu okulangirira enteekateeka z’okuddamu okutalaga eggwanga okwongera okwagaziza bannayuganda ebigendererwa byabwe.

            Nga tujaguza emyaka 50, egy’obuto egya mukama waffe,  Gen Muhoozi kitegeeza kinene nnyo gy’ali kubanga ayisse mu bintu bingi era sikyangu omuntu okuweza emyaka gino

            Njagala okusiima bannayuganda abalinddiridde Gen. Muhoozi nga Pulezidenti w’e ggwanga lyaffe addako mu kiseera ekituufu nga nnange kwendi nga  Pulezidenti Museveni amaze okuwumula

Musumba Bugingo naye abaddewo nnyo

Musumba Bugingo naye abaddewo nnyo

            “Nze nga Michael Nuwagira Toyota , amyuka ssentebe w’ekisinde kino ekya PLU mbakakkasa nti Gen Muhoozi ne mu  kiseera kino alina obusoboozi bw’okubeera omukulembeze w’e ggwanga lyaffe era ffe nga banna- PLU tumulinddiridde mu kiseera ekituufu” Toyota bweyategezezza

            Toyota yagambye nti ku mulundi guno  nga bajaguza emyaka 50, egya Gen. Muhoozi basazeewo obutakola bikujjuko nga batalaga eggwanga lyonna nga bwe bazze bakikola emabega yonna

            Wabula basazeewo okukunganira ku kitebe kyabwe e Nagulu okuteeka omikono ku kifaananyi kya Gen, Muhoozi ng’akabinero akalaaga essanyu gye bali ng’abantu bamukkiririzamu.

            Ye Michael Mawanda Ssabakunguzi w’ekisinde kino era omubaka wa Palamenti akikkiriza  Igara East mu Palamenti yatendereza katonda okuwa Uganda omukulembeze nga Gen. Muhoozi .

“Kino kirabo kubanga olaba ku bitiibwa by’alina asobola okutuuka ku myaka 50, natasalawo kugenda bulaaya kulya bulamu na ffamire ye,  kyokka n'asigala mu offiisi nga omuduumizi we ggye ly’e ggwanga ng’awereza bannayuganda ekyo si kintu kya bulijjo.

Team MK

Team MK

Gen Muhoozi okuweza emyaka 50, kiraaga nti ng’omuntu omubiri gwe gukuze ssaako ne bigendererwa bye bikulidde ddala okusobola okutwala eggwanga mu maaso era tumusuubiza nti tumulindiridde mu kiseera ekituufu okufuga eggwanga nga atwala mu maaso NRM byekoze emyaka gino gyonna.

Era nkakkasa bannayuganda nti omuntu waffe ssaawa yonna yagenda okubeera Pulezidenti wa Uganda  addako era mubeere baguminkkiriza.

Abakungu bano okwogera bino baabadde ku kitebbe kye kisinde kya PLU e Nagulu ku Lwokusattu era nga banna- kisinde abawera n’abakyagaliza obulungi okwabadde ne pasita Bujjingo babaddeyo okuteeka omukono ku kifaananyi kya Gen. Muhoozi

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: