MAJ. Gen Mugisha Muntu, ow’ekibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’abakulembeze b’ekibiina kya People’s Front for Freedom (PFF) okwabadde omubaka Ibrahim Ssemujju Nganda n’owa Buhweju Francis Mwijukye beezoobye ne poliisi eyabadde ebatangira okuyita mu kibuga Mbarara.
Baabadde batandise olugendo lw’okutalaaga ebitundu by’omu bugwanjuba nga batambuza enjiri y’okulonda abakulembeze baabwe.
Baasoose kusisinkana mu kizimbe kya Mbarara Catholic Centre ng’abanene b’ebibiina ebyo abalala kwabaddeko; Salam Musumba ne Dr. Lulume Bayiga.
Muntu yategeezezza nga bwe bakkiriziganya okugatta obwongo okulwanyisa obubbi bw’obululu mu kulonda okujja ng’ebibiina byonna ebirala ebiri ku ludda oluvuganya balina okwegatta bafune obuwanguzi mu 2026.
Omubaka Mwijukye agamba nti baasalawo okukola omukago n’aba ANT balwanirere obwenkanya mu buweereza. Wabula poliisi yagezezzaako okubatangira okuggulawo ofiisi
ne beezooba nayo okutuusa lwe baagigguddewo