Gavt. yaakugaba ebyapa emitwalo 30

GAVUMENTI eteeseteese okufulumya ebyapa eby’obwannannyini 391,000 eri abantu ku bwereere, wansi w’enteekateeka ya ‘Systematic Land Adjudication and Certification’ (SLAAC) omutendera ogwokubiri, ogugenda okuggwaako omwezi ogujja.

Minisita Nabakooba ng’alaga ebyapa ebigenda okukwasibwa abantu. Yabadde ku ofiisi enkulu etereka ebyapa e Ntebe.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

GAVUMENTI eteeseteese okufulumya ebyapa eby’obwannannyini 391,000 eri abantu ku bwereere, wansi w’enteekateeka ya ‘Systematic Land Adjudication and Certification’ (SLAAC) omutendera ogwokubiri, ogugenda okuggwaako omwezi ogujja.
Okusinziira ku Minisita w’ebyettaka, amayumba n’enkulaakulana y’ebibuga, Judith Nabakooba, ettaka lyonna eritaliiko byapa, bannannyini lyo balina omukisa okufuna ebyapa byabwe, awatali kusosola. Abafuna ebyapa bino basasulayo akasente akatono ennyo, ezisinga obungi gavumenti n’ezisasula, wansi w’enteekateeka eno.
Bino Nabakooba yabyogeredde ku mukolo kwe yaweereddeyo ebyapa 44,425 mu disitulikiti 13, eziri wansi wa ofiisi z’ebyettaka mukaaga, nga muno mulimu; Soroti, Jinja, Mbarara, Masindi, Lira ne Arua. Omukolo gwabadde Ntebe mu disitulikiti y’e Wakiso, ku Mmande, ku ofiisi enkulu etereka ebyapa era evunaanyizibwa ku kupunta ettaka lya Uganda lyonna.
Ebyapa ebyagabiddwa, biri mu disitulikiti okuli; Bukedea, Soroti, Serere, Kamuli, Luuka, Jinja, Mayuge, Sheema, Isingiro, Ntungamo, Maracha, Kikuube ne Oyam, nga buli muntu agenda okuweebwa ekyapa alina okusasula ssente emitwalo munaana n’ekitundu (85,000/-)Nabakooba yatangaazizza nti obusente buno butono nnyo bw’ogeraageranya abantu ze basasula okufuna ebyapa, n’omugaso gw’ebyapa. Yagambye nti singa Gavumenti teyayambako kusasulira bantu bano, bandibadde basasula wakati w’obukadde omunaana ne 10 buli kyapa.
Mu nteekateeka eno, Bukedea yafunye ebyapa 2,787, Serere 1,519, Soroti 1,279, Kamuli 7,458, Luuka 642, Jinja 494, Mayuge 3,260, Isingiro 2,978, Ntungamo 3,618, Sheema 2,733, Kikuube 8,728, Maracha 4,313 ate Oyam 4,616.
Minisita Nabakooba yakubirizza abaafunye ebyapa okubikuuma obulungi, ate ettaka lyabwe balikozese okwekulaakulanya bakyuse embeera zaabwe.
Enteekateeka ya Systematic Land Adjudication evujjirirwa bbanka y’ensi yonna ne gavumenti ya Uganda, okulaba nga tewali muntu asigala mabega, mu kampeyini y’okupunta ettaka lyonna mu ggwanga n’okulifunira ebiwandiiko ebituufu.