EBITONGOLE bya yinsuwa byongedde okusikiriza bannansi okwetanira okweyunga kunkola zino eza yinsuwa, batongoza enkola empya buli alina essimu ey'omu ngalo mw'ayinza okuyita okusasula yinsuwa mu kaweefube ow'okwerinda ebigwa tebiraze.
Mu nkola eno empya aba kampuni ya Britam basse omukago ne kkampuni y'ebyempuliziganya eya Airtel nga kati oli bw'aba ye yambisa Airtel Money asobolera ddala okugula ' Motor third party insurance '.
Omukolo ogw'okutongoza enkola eno gwayindidde mu Kampala ku Lwokubiri, akulira Britam Uganda, Allan Mafabi, mwe yannyonyoledde nti batunuulidde okusingira ddala abantu abawansi abasookerwako nga k'obeere omulimi oba omugoba wa boda boda kasita oba nga olina essimu ey'omu ngalo kyangu kyakweyunga ku yinsuwa eno waakiri n'otandika mpola mpola okusasulira ebirime byo nga mu maaso eyo singa oba okoseddwa ekyeya babeera baggya kukuliyirira.

Bakafulu mu bya yinsuwa bwebabadde bannyonyola bannansi enkola eno empya
Yagasseeko nti ekigendererwa si kutunda yinsuwa yokka, wabula okwanguyiza Bannayuganda okweyambisa empeereza z'okwerinda mu by'ensimbi n'okuteekateeka ebiseera eby'omu maaso.
Ye akulira Airtel Money, Japhet Aritho yategeezeza nti oluvannyuma lw'okukyusa engeri abantu gye bakozesamu ensimbi ku ssimu, kati baagala n'okubanguyiza okwekuuma ku bulabe n'okufuna empeereza z'ebyensimbi mu ngeri enyangu.
K'obeere mu kitundu ky'eggwanga ekisingirayo ddala okubeera eky'ewala olw'okuba olina essimu kati kyangu kyakweyunga ku nkola zino eza yinsuwa.