Abavubuka abasukka mu 10 omulamuzi Edgar Karakire abagambye nti akooye okubalaba mu kkooti ye buli kiseera.

Bano omulamuzi yakooye okubalaba mu kkooti
Abalagidde okusasula engassi ya mitwalo 20 buli omu bwe balemwa babasibe emyezi ena nga bavunaanibwa kumalako bannakampala mirembe n’okubanyakulako ebyabwe anti nga buli poliisi lw’ekola ebikwekweto tebabulamu.
Ku bano kuliko Musa Ssenabulya, Henry Tumusiime, Ahmed Yoweri, Kiyaga Rayan, Allan Twijukye Ashiraf Ssekyanzi, Rodgers Mubiru, Hassan Kisekka, Steven Matovu ,Kiwa Aabudallah n’abalala.
Abamu ku bano ababaddeyo nga gwe mulundi gwa bwe ogusoose okukwatibwa kkooti ebasonyiye , omulamuzi Karakire ku kkooti ya City Hall abalabudde nti lwe banaddamu okuleetebwa mu maaso bajja kuwulira akamufaamu.
Bamukubidde mu ngalo ne bamusiima okubasonyiwa era bano babadde bavunaanibwa okufuuka ekitagasa mu kibuga ssaako okwekukuutiriza ku bantu n’ekigendererwa ekyokubabba.