Abantu babiri batwaliddwa mu ddwaliro nga bali bubi oluvannyuma lw'okugwa ku kabenje e Rubanda.
Akabenje kabadde Nyamasisi mu masanganzira ku luguudo oluva e Kabale okudda e Kisoro, loole ekika kya HOWO nnamba UA 099DX Sino Truck, bw'etomereganye ne corona nnamba UBA 630 X abantu babiri nga basajja ne balumizibwa.
Omwogezi wa poliisi mu Rwenzori East Elly Maate, agambye nti omuvuzi wa corona abadde avuga endiima, avudde mu layini ye n'alumba Sino truck ne bambalagana. Akubirizza abavuzi b'ebidduka, okwewala endiima.