Essomero lya King David Junior School e Ndejje eryafiirwa abaana mu kabenje e Kapchorwa ligguddewo olwaleero mu butongole okuddamu okusomesa.

Nnamwandu Prossy Ssekadde, ng'annyonnyola.
Kino kiddiridde ebbanga erya wiiki ebbiri eryabaweebwa minisitule y’ebyenjigiriza okuggwaako ku ku lunaku Lwokuna.
Prossy Ssekadde, nnamwandu w’omugenzi Tadeo Ssekadde agambye nti batandise na kubuulirira baana abaagwa ku kabenje era ne bawona n’okubateekateeka okumanyiira emisomo gyabwe, nga wano we banaava batandikire ddala emisomo egyaddala.

Omusomesa n'omu ku baana abaasimattuka
Bbosa Margaret, mwannyina w’omugenzi kati akulira akakiiko akaddukanya essomero agambye nti abaana abaasimattuka akabenje aba P7 bali musanvu abatandise olwaleero wabula abalala bakyali mu malwaliro bakyajjanjabibwa n’abalala bakyava waka okugenda okubudaabudibwa ng’eno gye banaava okwegatta ku bannaabwe abaatandise.