OMUSUUBUZI Hajji Hassan Bulwadda asomedde Pulezidenti Museveni ddiiru mwayagala okuyita okukyusa embeera y’ebyensula mu ggwanga.
Bulwadda yasinzidde ku mukolo ogwabadde ku Mbiriizi Muslim Primary School ogw’okusonda ssente z’okuzimba ekitebe ky’obusiraamu ekya disitulikiti ye Lwengo n’eddwaliro lya Health Centre IV n’ayanjulira Pulezidenti entegeka gyalina.
Hajji Hassana Bulwadde ng'ayogera e Lwengo
“Ssebo Pulezidenti tuli bavubuka abasajja n’abakazi abalina kye beekoledde. Tusaba otukkirize tuzimbe amayumba lwakiri 1000 mu buli disitulikiti nga buli emu ya bukadde 70. Singa otuwagira mu kaweefube waffe abantu bajja kutwesiga mu mulimu gw’okuyamba bamufunampola okwekulaakulanya” Bulwadda bwe yategeezezza.
Oluvannyuma yawaddeyo obukadde 100 ku mulimu gw’okuzimba wakati mu bantu okumukubira enduulu empitirivu. Pulezidenti yasanyukidde enteekateeka ya Bulwadda era n’amuyita ne beekubya ekifaananyi era n’amukuba akaama.
Pulezidenti yawaddeyo obukadde 200 wabula n’asuubiza okwongerako endala zonna era n’abagamba nti mu kaweefube w’okwanguyaako omulimu, eggye lya UPDF lye ligenda okuzimba ebizimbe byonna.
Haji Hassan Bulwadda ng'ayogera ne Pulezidenti e Lwengo
Museveni yasiimye abantu be Lwengo olw’okulabuka ne batandika okukola emirimu egivaamu ssente ng’okulima emmwanyi mu bungi.
“Tetukyetaaga bantu batunula butunuzi ng’abalala bakola emirimu omuva ssente. Buli maka mu Muluka galina okubeera n’emmere ebamala bwe baba balina ettaka kwe balina n’okugatta ebintu ebirala omuva ssente” Museveni bwe yabuuliridde