Abagagga b'omu Kampala; John Ssebalamu ku ( kkono ) , John Bosco Muwonge ( wakati mu kkooti ) mu kuziika Muganda waabwe Tamukedde Billy Mulindwa e Kasanje Villamaria Masaka leero akawungeezi.
Tamukedde eyaliko maneja wa ppaaka ya Kisenyi Bus Terminal mu Kampala okumala ekiseera , yafiiridde mu kabenje akaagudde e Lweza bwe yabadde ne munne Joakim Sekabira nga bava e Masaka okudda e Kibiri ku lw'e Busaabala ku Lwokuna ekiro.
Okuziikwa kwetabiddwamu abagagga abawerako abeegattira mu kibiina Kya " Tulibumu ".
Omugagga Hamimis Kiggundu, Deous Kakeeto eyali nannyini JBK, nabo babaddeyo .