Endowooza z'ababaka ku kifo kya sipiika

Mar 21, 2022

ABABAKA  ba Palamenti bawadde endowooza zaabwe ku ki ekirina okukolebwa mu kadde kino ng' ekifo kya sipiika tekiriimu muntu olwa sipiika Oulanyah okufa olunaku lw'eggulo .

Endowooza z'ababaka ku kifo kya sipiika

Edith Namayanja
Journalist @Bukedde

Bya Edith Namayanja

ABABAKA  ba Palamenti bawadde endowooza zaabwe ku ki ekirina okukolebwa mu kadde kino ng' ekifo kya sipiika tekiriimu muntu olwa sipiika Oulanyah okufa olunaku lw'eggulo .

Akeetalo ko kamaanyi ku Palamenti era nga minisita Milly Babalanda eyalondeddwa okukulembera enteekateeka z’okuziika omugenzi abadde sipiika wa Palamenti Jacob Oulanya yatuuse dda okwetaba mu lukiiko n’abakulu ku Palamenti okuteesa ekidddako.

Omubaka wa Elgon North, Gerald Nangoli agambye nti waliwo ssemateeka alina okugobererwa mu kadde kano era nga alina essuubi nti Katonda eyabawa Oulanyah agenda baleetera omuntu omulala adde mu kifo kino.

Ono wabula anakuwadde nti olw'okuba nga bannaabwe mu kaseera kano nga bali mu kunyolwa ate waliwo abali mu kukuba kakuyege kwani alina okudda mu kifo kino.

Ye omubaka wa munisipaali y’e Bugiri Asuman Basalirwa agambye nti ssemateeka tateekeddwa kutataaganyizibwa era nga balina okukola ekisoboka okulaba nga balonda omuntu nga n’omubiri gwa Oulanyah tegunnatuusibwa ku kisaawe  Entebbe.

Omubaka wa Kashari County, Nathan Itugo  agambye nti ku ky’okusalawo ku kifo kino kiri mu mikono gya kibiina kya NRM ekiri mu buyinza.

 

 

Comments

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});