Omubaka Namuju ayiye mu SACCO y'ab'e Masaka obukadde 11 bwe ddu!

Oct 31, 2021

OMUBAKA omukyala owa disitulikiti y'e Lwengo Cissy Diyonozio Namuju acamudde abakulembeze b'essaza ly'e Masaka bw'abiwadde akavangata ka ssente ka bukadde 11 mu buliwo nti bazitandiseemu  SACCO enaabayambako okwekulaakukanya.

Omubaka Namuju ayiye mu SACCO y'ab'e Masaka obukadde 11 bwe ddu!

Ssennabulya Baagalayina
Journalist @Bukedde

Wano w'asinzidde okugugumbula Bannabuddu abamera obusajja ku mitima eri abaana baabwe abafunye ebifo mu gavumenti mwe baweerereza.

Abyogeredde Masaka bw'abadde omugenyi omukulu ng'abakulembeze b'essaza ly'e Masaka beebaza Katonda abamazizaako emyaka ebiri mu ofiisi.

Bd3cdb48 7ebf 44f7 B5c7 48c7d1d4a135

Bd3cdb48 7ebf 44f7 B5c7 48c7d1d4a135

Namuju agambye nti wadde wa NRM naye ayagaliza Munnabuddu munne era omubaka wa Nyendo-Mukungwe, Mathias Mpuuga entebe gy'alimu ey'okukulira oludda oluvuganya Gavumenti mu Paalamenti n'agugumbula abamulengezza so ng'ekifo kino kyongera ku ttuttumu lya Buddu.

94f7a75c B91f 4d78 9e89 1be67e54fb82

94f7a75c B91f 4d78 9e89 1be67e54fb82

Yeebazizza omusumba Jjumba ne Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga  olw'okugoba eby'obufuzi mu buweereza bwabwe ne basembeza buli omu.

Ate Pookino wa Buddu Jude Muleke asabye abakulembeze bakomye omuze gw'okukabanga ebizibu mu kifo ky'okubigonjoola.

Eb603bc8 Ce40 4366 9514 9b865ba591d0

Eb603bc8 Ce40 4366 9514 9b865ba591d0

Ye Ssabakristu w'essaza  Muky Regina Kitaka agambye nti emyaka ebiri  tegibatambulidde bulungi olw'okusomoozebwa kw'ekirwadde kya  COVID  19 naye nga balina bye bakozeeko.

Comments

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});