Aba loole ne bbaasi basattira olw’okuggala olutindo lw’e Karuma

May 06, 2024

ABADDUKANYA bbaasi ne loole okuva n’okudda mu bitundu by’obukiikakkono bw’eggwanga okuyita ku lutindo lwa Karuma basattira olw’okubagaana okuluyitako nga kati gye balina okuyita, olugendo lweyongeddemu.

Aba UNRA nga balambula olutindo lw’e Karuma olubomose.

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

ABADDUKANYA bbaasi ne loole okuva n’okudda mu bitundu by’obukiikakkono bw’eggwanga okuyita ku lutindo lwa Karuma basattira olw’okubagaana okuluyitako nga kati gye balina okuyita, olugendo lweyongeddemu.

Kino kiddiridde ekitongole ekya UNRA okulangirira nti okutandika ne Mmande nga May 6, mmotoka ennene ne bbaasi ezisussa obungi bw’abasaabaze 28 tezijja kukkirizibwa kuluyitako kuggyako mmotoka entono nga bwe balinda okuluddaabiriza.


Okulukola kusuubirwa okumala emyezi esatu nga gavumenti bw’enoonya ssente ez’okuzimba olutindo oluggya. Ebidduka ebyakoseddwa bye bidda n’okuva by’e Gulu n’okweyongerayo nga kati birina kuwetera ku mugga Kafu okudda e Masindi okuyita mu kkuumiro ly’ebisolo erya Murchison Falls ne ku lutindo lwa Paraa okuyunga e Pakwach.
Ate ebidda e Lira bisobola okuyita e Iganga -Nakalama -Tirinyi -Palisa -Kumi -Soroti. Ibrahim Kayondo ow’ekibiina ekigatta baddereeva ba bbaasi mu ggwanga ekya United Bus Owners Association (UBDA) yagambye nti aba bbaasi balina okwongeza ebisale by’entambula okusobola okuziyimirizaawo.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});